OMUSAJJA abadde afuweeta taaba, kigambibwa nti avuddeko omuliro ogukutte ennyumba, ebintu ebiwerako, ne bisaanawo.
Bibadde ku kyalo Rwamugura mu muluka gwa Kakore mu Ggombolola y'e Hamurwa e Rubanda, Peter Kyompeire gy'agambibwa okuvaako omuliro ogwokezza ennyumba ne mugiiramu ebintu byonna ebigibaddemu.
Kitegeezeddwa nti Peter, yayawukana ne mukazi we Agnes Twinomuhwezi emyaka esatu egiyise, era nga ku olwo, yakomyewo ng'atamidde, n'atandika okunywa taaba, omuliro ne gugwa ku ngoye ne zikwata omuliro ennyumba yonna n'esaanawo.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi, Nelson Tumushiime, alabudde abantu okwewala ebintu ebiyinza okuvaako omuliro .