EKITUNDU kya Busoga East region , kiweereddwa pikipiki 77, ziyambeko ku basirikale mu kulawuna ebitundu eby'enjawulo mu nkola y'okussa poliisi ku magombolola eya 'Sub County Policing Modal'.
Ekitundu kino, kikoleddwa Iganga, Bugiri, Mayuge, Bugweri, Namutumba ne Namayingo, era ng'ekitundu ekyo, kirimu ensozi n'amayinja oluusi ekibadde kikaluubiriza awamu emmotoka okutuukayo.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Micheal Kasadha, asiimye abakulembeze mu poliisi ne gavumenti okutwalira awamu, olwa pikipiki zino, mu kwongera okulwanyisa obumenyi bw'amateeka n'okuduukirira obuzibu obutalibumu