GAVUMENTI etaddewo nsalessale wa mwezi guno eri amasundiro ga mafuta wonna mu ggwanga okubeera nga gamaze okusala bbeeyi yaago.
Gavumenti ng’eyita mu kitongole kyayo ekivunaanyizibwa ku mafuta ekya “National Oil Company (UNOC) okutwala obuvunaanyizibwa bw’okuyingiza amafuta mu ggwanga ne kigaguza amasundiiro ga mafuta ku bbeeyi eya wansi.
Okusinziira ku minisita Ruth Nankabirwa ow’amasannyalaze, amafuta n’eby’obugagga obw’omuttaka yagambye nti UNOC yapatana ne kkampani ezibunyisa amafuta gano okwetooloola eggwanga lyonna ku ssente eza wansi nga tewali nsonga lwaki gakyali waggulu.
Abavuzi b'ebidduka ebikozesa amafuta mu ggwanga.
“Gavumenti yatandika okuyingiza amafuta aga layisi mu ggwanga mu July, 2024, era nga tusuubira nti omwezi gwa August, 2024 we gunaggweerako ng’amasundiro gonna agaali gayingiza amafuta ku bbeeyi eya waggulu gajja kubeera nga bagamazeewo” Nankabirwa bwe yategeezezza.
Nankabirwa bino yabyogedde wiiki ewedde ku kitebbe kya minisitule ye, ekisangibwa ku kizimbe kya ‘Amber House’ mu Kampala bweyabadde ennyonnyola ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku minisitule ye.
Yagambye nti kkampuni ezapatanibwa okutambuza amafuta zongedde okugabunyisa ku bbeeyi eya wansi mu ggwanga lyonna era tewali nsonga lwaki amasundiro agamu gakyalemezaayo bbeeyi ya mafuta waggulu ng’ate bo bagasuubula ku layisi.
Kigambibwa nti UNOC kkampuni ze yapatana okubunyisa amafuta okwetooloola eggwanga buli liita ya Diesel bagibaguza ku 4000/- ate Petro ku 4,500/- kati lwaki amafuta gatundibwa 5000/- n’omusobyo.
Nankabirwa yayongeddeko nti nga gavumenti bw’eguza aba kkampuni gano amafuta ku layisi nabo bwe balina okugaguza ab’ebiduuka ku layisi.
Abasuubula amafuta kye bagamba.
Val Oketcho omwogezi wa kkampuni y’amafuta eya Shell [Vivo Energy] yategeezezza Bukedde nti ku lwabwe balaba nga amafuta gasseemu ku bbeeyi okusinziira ne bwe gabadde gatundibwa emabega.
Byron Kinenne ssentebe wa baddereeva ne bannannyini loole ebisaabaza eby’amaguzi [Regional Lorry Drivers and Transporters Association] yagambye nti gavumenti ebadde yalwawo nnyo kubanga amafuta gayitiridde obuseere ate nga kwe kutambulira omutima gw’eby’obusuubuzi mu ggwanga .