Abayizi ba Kyambogo yunivaasite 9 abagambibwa okwetaba mu kwekalakaasa nga bawakanya emu ku bbanka ku bigambibwa nti ewagira okuzimba omudumu gw'amafuta okuva e Kikuube okudda e Tanzania, bakwatiddwa.
Ku bano, kuliko abavubuka Mukaaga n'abawala bana era nga babakwatidde ku Lugogo by pass mu Kampala.
Bonna, bakuumirwa ku poliisi e Kira ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.