EMBOOZI ya mmotoka ya Rajiv mutabani wa naggagga Sudir Ruparelia ekika kya Nissan GT-R Sport okuba nga yali enywa mafuta ga nnyonyi nakati ekyali ku mimwa gya Bannayuganda nga bangi bagamba nti, bulimba bwennyini.
Wabula Moses Sseguya, omukugu mu kukebera mmotoka z’empaka mu Uganda ng’ali mu ddaala lya nsi yonna agamba nti, abavuzi b’emmotoka z’empaka mu Uganda 40 ku 100 mmotoka zaabwe zikozesa mafuta ga nnyonyi ekika kya AvGas (Aviatio Gasoline /Fuel) ate endala zikozesa ga V-power.
Okusinziira ku Sseguya, mmotoka zino nga Ford Fiesta R5 eya Yasin Nasser, Subaru N12B eya Suzan Muwonge n’abalala zikozesa mafuta kika kino kuba yingini zaazo zaakolebwa nga ge zikozesa, mangu ga kufuna ate nga bbeeyi ya wansi okusinga ekika kya Racing Fuel.
“Mmotoka eziriko zikolebwa nga zirimu kompyuta ezikwataganya mu ntambula yaazo.
Kompyuta eno ekolebwa ng’etegeera mafuta gali ku mutendera guno gokka kuba mangu ga kwokya olwo mmotoka n’efulumya amaanyi agagiwenyusa obuweewo okuvuganya mu mpaka,” bw’agamba.
W dde nga bangi beebuuza engeri abavuzi gye bagafunamu, Sseguya agamba nti, amafuta gano galeetebwa kkampuni z’amafuta okuli shell, Total ’essundiro lya Hared e Nsambya ekigafuula amangu g’okufuna eri abavuzi b’emmotoka z’empaka.
Mu ngeri y’emu gali ku bbeeyi ya wansi okusinga agakolebwa okukozesebwa mu mmotoka z’empaka aga Racing Fuel nga liita ya AvGas ya 15,000/- ate eya
Racing Fuel ya 25,000/-.
“Mmotoka nga Mitsubishi Evo 10 eya Dancan Mubiru Kikankane ebadde enywa liita 200 mu mpaka z’eggwanga eza National Rally Championship (NRC) kyokka mu za African Rally Championship ARC egenda kumunywako liita 300 kuba olugendo luwanvu okusinga olwo NRC,” bw’agamba.
Mmotoka zino ziddukira ddala nga Mitsubishi Evo 10 esobola okutuuka ku sipiidi 250 buli ssaawa nga kino kitegeeza nti, zeetaaga amafuta amangu
g’okwokya esobole okudduka abalabi n’omuvuzi okunyumirwa empaka.
AMAFUTA G’ENNYONYI
Ennyonyi zisinga kukozesa amafuta agamanyiddwa nga Jet Fuel okuli Jet A ne Jet A-1 nga gano galimu ebirungo by’amafuta g’ettaala za tadooba. Gano ge gasinga okukozesebwa mu nnyonyi ezitambula eng’endo empanvu era enneetissi n’ez’amagye.
Amafuta gano nga Jet A, gasinga kubeeramu mafuta ga ttaala olwo ne gatabulwamu ebintu ebirala ebikuuma yingini y’ennyonyi obutayonooneka.
Amafuta gano gakozesebwa kuba tegakwata mangu muliro nga geetaaga okubeera mu bbugumu erisukka mu 100 F ate galwawo okukwata bbalaafu nga kigeetaagisa okutuuka mu bunnyogovu bwa -22 F kuba ennyonyi ennene zibuukira mu buwanvu bwa 33,000 – 42,000ft okuva ku nnyanja nga mu buwanvu buno mpewo ebeera ennyogoga nnyo nga Jet-A tasobola kukwata bbalaafu.
Amafuta ekika kya AvGas kikozesebwa mu nnyonyi ezirina yingini ezikozesa Pisitoni nga buno bwe bunyonyi obutono obukozesebwa munda mu mawanga okubuusa abantu okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala gamba okuva e Kajjansi okugenda e Gulu n’amatendekero g’abavuzi b’ennyonyi. Kyokka amafuta gano gagambibwa okubeera ag’obulabe eri obulamu bw’omuntu nga galina okukwatibwa n’obwegendereza era gatambulirizibwa mu ppipa