Engeri amateeka ga ttulafiki amapya gye gazingizaamu n'abatalina bidduka byabwe

OLWALEERO ku Lwokusatu, minisita w’Ebyentambula agenda kutongoza enteekateeka ya gavumenti ey’okussa mu nkola okutandika okukwasisa ebibonerezo ebikakali ku bavuga endiima n’okuvugisa ekimama. 

Engeri amateeka ga ttulafiki amapya gye gazingizaamu n'abatalina bidduka byabwe
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Mateeka #Mapya #Ttulafiki #Kidduka #Bidduka #Kuzingiza

OLWALEERO ku Lwokusatu, minisita w’Ebyentambula agenda kutongoza enteekateeka ya gavumenti ey’okussa mu nkola okutandika okukwasisa ebibonerezo ebikakali ku bavuga endiima n’okuvugisa ekimama. 

Bagenda kusooka na kukwasisa mateeka eri abo abavuga endiima esussa 30 Km/h mu bifo by’olukale, okuliraana n’okwetooloola amasomero, amalwaliro, amasinzizo n’ebirala ebigwa mu kkowe lino ssaako n’abo abatagoberera bitaala mu nkola ey’okuvugisa ekimama nga beeyambisa enkola ya tekinologiya eya kkamera mu kusaba engassi eya Intelligent Transport Monitoring System (IMTS).

 

Etteeka lino (Speed Regulation) liri mu tteeka eddene erifuga ebidduka n’okulwanyisa obubenje ku nguudo erya 1998, wabula nga eryakolebwamu ennongoosereza lyayisibwa ku ntandikwa y’omwaka guno era ne lissibwa mu katabo ka gavumenti aka Gazette.

Omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Micheal Kananura, yagambye nti, amateeka amapya tegagenda kukoma ku babavuga bidduka, wabula gagenda kutwalibwa n’abasaabaze okuli n’abaana.

“Amateeka gano n’atalina kidduka waakugalozaako,” Kananura bwe yagambye. N’agattako nti, omusaabaze okulinnya Bodaboda nga talina kikoofiira (Helmet) engassi ya 40,000/- ate n’omugoba waayo naye ssente ze zimu omugatte 80,000/-.

Abaana abataweza myaka 12 egy’obukulu tebakkirizibwa kutuula mu maaso mu mutto gwa mmotoka, ate abo abataweza myaka etaano balina kutuuzibwa mu bisawo emabega ebimanyiddwa nga ‘restraints)’ mu mmotoka naddala ez’olukale.

Abaana awali wakati w’emyaka etaano okutuuka ku 12 balina okutuula mu bifo era beesibe emisipi nga bwe kiri eri abantu abakulu.

Kananura agamba nti, bino byonna n’ebirala ebikolebwa kutaasa bulamu bw’abantu abeeyongera okufiira mu bubenje obutataliza na mabujje.

Aba pikipiki naddala Bodaboda abatuula ku ttanka yaayo ey’amafuta ng’emabega ng’omutto gutuuliddwaako basaabaze abasukka mw’omu oba ebifuluusi n’ebyamaguzi ebirala nabo etteeka ligenda kubakwata.