Gavt. ekkirizza ddiiru ya Mmengo ku kutunda emmwaanyi

GAVUMENTI ekkirizza ddiiru eyakoleddwa kkampuni y’Obwakabaka eya Mmwaanyi Terimba Limited, ey’okutunda emmwaanyi e China

Abakungu ba Gavumenti nga bannyonnyola
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI ekkirizza ddiiru eyakoleddwa kkampuni y’Obwakabaka eya Mmwaanyi Terimba Limited, ey’okutunda emmwaanyi e China.
Kamisona wa minisitule y’ebyobulimi avunaanyizibwa ku birime, Stephen Tibeijuka Byantwale, yagambye nti kkampuni ya Mmwaanyi Terimba yateekayo okusaba kwayo eri minisitule ng’eyagala bagiwe olukusa olubakkiriza okutunda emmwaanyi e China.
Baabasaba ebisaanyizo eby’enjawulo ebikwata ku bwannannyini bwa kkampuni, omusingo gwa doola 30,000, mu za Uganda obukadde 110, ekifo we basunsulira emmwaanyi awamu n’endagaano ze baakola n’ebitongole ebirala bye bakolagana nabyo.
Oluvannyuma lw’okukakasa nga byonna babirina baabawadde layisinsi ya mwaka, ebakkiriza okutunda emmwaanyi e China. Kyokka mu kiseera kino bajja kusigala nga beekenneenya omutindo era layisinsi esobola okuzzibwa obuggya.
Tibeijuka yagambye nti kkampuni z’obwannannyini kati ziweze 33 ezikkirizibwa okutunda emmwaanyi mu mawanga g’ebweru. Era n’endala zonna ezaagala okutwala emmwaanyi za ddembe okutwalayo okusaba kwabwe.
Ebbaluwa eriko ennaku z’omwezi nga November 14, 2024 n’omukono gwa Paul Mwambu, kamisona avunaanyizibwa okulambula ebirime ye yaweereddwa abaMmwaanyi Terimba ng’ekakasa nga bwe baatuukirizza ebisaanyizo byonna ebyabasabibwa.
BATUNZE EMMWAANYI EZISOOSE E CHINA
Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Mmwaanyi Terimba, Daniel Damulira, yagambye nti wiiki ewedde baatutte emmwaanyi ezaasoose e China. Bajja kuba batwala n’endala nga batunda empeke za kase omubisi n’omulongooseemu.
Obwakabaka era bulina entegeka y’okuzimba ekyuma ekyongera ku mpeke za kase omutindo e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono. Mu 2016, Buganda yatongozza kaweefube w’okulima emmwaanyi mu Bwakabaka okusobola okutumbula ennyingiza y’abantu. 

Buganda y’esinga okulima emmwaanyi mu bitundu bya Uganda

Ebiwandiiko bya minisitule y’ebyobulimi biraga nti Buganda kye kitundu ekisinga okulima emmwaanyi nga mu 2023/2024 baalima ensawo 3,173,854. Ekitundu kya Rwenzori kye kiddako n’ensawo 914,675. Uganda mu kiseera kino eyingiza obukadde bwa doola za America 900 okuva mu nsawo obukadde mwenda ezitundibwa ebweru w’eggwanga. Ku disitulikiti 115 ezirima emmwaanyi mu Uganda, 25 zisangibwa mu Buganda.
Gye buvuddeko, Pulezidenti yategeeza nti akatale k’emmwaanyi ak’ensi yonna kabalirirwamu obuwumbi bwa doola za America 460. Africa yonna efunako obuwumbi bwa doola za America bubiri n’obukadde 500. 

GAVT. ERUUBIRIRA OKWONGERA KU MMWAANYI EZITUNDIBWA EBWERU
Ekiruubirirwa kya Gavumenti kwe kulaba ng’omwaka gwa 2030 we gunaatuukira nga Uganda efulumya ensawo za kkiro 60 eziwera obukadde 20. Mu kiseera kino Uganda ekwata kifo kya musanvu mu nsi yonna mu nsi ezisinga okutunda emmwaanyi.
UCDA EKYAKOLA MU MATEEKA
Minisita w’ebyobulimi n’obulunzi, Frank Tumwebaze, yasinzidde ku Media Centre n’agumya eggwanga nti wadde nga Palamenti yakola ennongoosereza mu tteeka ly’emmwaanyi n’eggyawo ekitongole kya UCDA n’ekiteeka mu minisitule kyokka tewali kyakyuse.
Yagambye nti mu kiseera kino nga Pulezidenti tannassa mukono ku tteeka, embeera yasigadde nga bweri era abakozi ba UCDA bakyakola emirimu gyabwe ng’okulondoola omutindo gw’emmwaanyi okukakasa 

 

Okuwandiisa abalimi b’emmwaanyi kukyakolebwa 

Minisita Tumwebaze yagambye nti kaweefube w’okuwandiika abalimi b’emmwaanyi bonna ng’akamu ku kakwakkulizo akaabateekebwako amawanga ga Bulaaaya okukakasa nga tebalimira ku ttaka lya bibira kakyagenda mu maaso.
Mu kiseera kino abalimi abawera 186,434 be baawandiikibwa aba UCDA ne baweebwa n’olukusa olulaga nti bagoberera amateeka.
Omukago gwa Bulaaya ogwa European Union gwabongeddeyo omwaka mulamba okuwandiisizaamu abalimi.
Abakozi aboomugaso ennyo ababadde mu UCDA , Tumwebaze yagumizza nga bwe bagenda okubasigaza era nga waliwo enteeseganya ze balimu n’aba minisitule evunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti. N’emisaala gyakutunulwamu omulimisa w’oku ggombolola abeere ng’afuna 4,300,000/- buli mwezi. 

nga banoga zengedde n’omutindo gw’ebyuma. Tumwebaze yagambye nti Pulezidenti ne bw’anaaba ataddeko omukono era waliwo ebitajja kukyuka kuba amateeka agafuga omutindo gw’emmwaanyi tegakyuse.
“Ekyakoleddwa kiringa kukyusa muserikale wa ttulafiki omu ne bateekawo omulala ku luguudo, n’olowooza nti n’amateeka agakugira okuvuga endiima gaakyuse. Minisitule weeri okulaba ng’ekuuma omutindo” Tumwebaze bwe yagambye.
Obuvunaanyizibwa bwonna obubadde obwa UCDA bugenda kuteekebwa mu kitongole ky’ebyemmwaanyi ekya Coffee Development ekiri mu minisitule y’ebyobulimi. Ofiisi za UCDA zonna mu ggwanga zigenda kuddukanyizibwa minisitule y’obulimi butereevu. Abantu ababadde baafuna olukusa okukola emirimu egy’enjawulo okuva mu UCDA, Tumwebaze yabagumizza nga bwe watali kigenda kusazibwamu