Ttakisi ebadde etwala abaserikale okutendekebwa egudde ku kabenje !

TTAKISI ebadde etwala abaserikale okutendekebwa e Kabalye mu disitulikiti ya Masindi egudde ku kabenje bana  ne bafuna ebisago ne baddusibwa mu ddwaaliro e Kasana okufuna obujjanjabi.

Ttakisi ebadde etwala abaserikale okutendekebwa egudde ku kabenje !
By Samuel Kanyike
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mawulire #Ttakisi #Basasi

TTAKISI ebadde etwala abaserikale okutendekebwa e Kabalye mu disitulikiti ya Masindi egudde ku kabenje bana  ne bafuna ebisago ne baddusibwa mu ddwaaliro e Kasana okufuna obujjanjabi.

Loole Gye Yayambalaganye Nayo.

Loole Gye Yayambalaganye Nayo.

Bino byagudde ku kyalo Kibanga e Kukyusa ku luguudo oluva e Luweero okudda e Kikyusa ku Lwokutaano kumakya, ttakisi UBL 426H bwe yayambalaganye ne loole ekika kya Tata UBS 925 E eyabadde etisse ebikajjo ng'eyimiridde mu kkubo.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti abagenda okutendekebwa poliisi ttakisi yabadde ebaggya Busoga okuboolekeza e Kabalye nga bwe baatuuse mu kitundu kino enfuufu n'ebuutikira ekkubo n'ayambalira loole.

Abaalumiziddwa mulimu Kevin Okello 22, ow'e Kakira Jinja, Shaban Moru (24) okuva e Jinja, Eric Joseph Kirunda 20, okuva e Bugweri ne kondakita wa ttakisi  Emmanuel Muzito ow'e Mbikko.

Poliisi egambye nti akabenje kaavudde ku kuvuga ndiima n'asaba abavuzi b'ebidduka okubeera abeegendereza naddala nga bali ku nguudo eziriko enfuufu.