Abantu bana ababadde batwalibwa e Kabalye okutendekebwa poliisi, bagudde ku kabenje ne baweebwa ebitanda nga bafunye ebisago.
Akabenje kabadde ku kyalo Kabanga mu kabuga k'e Kikyusa e Luweero, kamunye nnamba UBL 426H bw'etomedde TATA lorry nnamba UBS 925 E ebadde esimbye ku mabbali g'ekkubo ng'etisse ebikajjo.
Abalumiziddwa, babadde bagibwa Busoga okutwalibwa e Kabalye okutendekebwa era nga kuliko Kevin Okello 22 ow'e Kakira Jinja, Shaban Moru 24 w'e Jinja, Joseph Kirunda 20, ow'e Bugweri, Emannuel Muzito 34 kondakita wa takisi ng'abeera Mbikko.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna Sam Tweanamazima agambye nti badereeva bombi, badduse era babayigga.