Frank Gashumba ayanjuddwa mukyala we Malaika Mutoni e Ssembabule

16 hours ago

FRANK  Gashumba omu ku bannayuganda abaterya ntama kyaddaaki amaze nayanjulwa mwana munne Patience Malaika Mutoni mu bazadde be mu disitulikiti y’e Ssembabule ku mukolo ogwasitudde ebikonge mu ggwanga.

Frank Gashumba ng'ayanjulwa mukyala we Mutoni Malaika
NewVision Reporter
@NewVision
181 views

FRANK  Gashumba omu ku bannayuganda abaterya ntama kyaddaaki amaze nayanjulwa mwana munne Patience Malaika Mutoni mu bazadde be mu disitulikiti y’e Ssembabule ku mukolo ogwasitudde ebikonge mu ggwanga.

Frank Gashumba ng'ali mu mapenzi ne mukyala we Malaika Mutoni

Frank Gashumba ng'ali mu mapenzi ne mukyala we Malaika Mutoni

Omukolo guno ogubadde ogw’e kyama ennyo leero ku Lwokuna Gashumba ayanjuddwa muvandimwe munne Malaika Mutoni mu maka g’abazadde be e Ssembabule.

 Mu banene Gashumba basitudde kuliiko ebikonge okuva mu maggye, poliisi , bannabyabufuzi, abasumba ba balokole  n’abasubuuzi b’omu Kampala abamaanyi.

Frank Gashumba ne mukyala we

Frank Gashumba ne mukyala we

Ku bamuwerekedde kuliiko Brig Christopher Ddamulira, Brig Godfrey Golooba, Brig Flavia Byekwaso, minisita  omubeezi ow’abaana n’abavubuka Balaam Baragahara, minisita omubeezi ow’amazzi Aisha Ssekindi, minisita Hanifa Kawooya, minisita Lillian Aber, Pasita Aloysious Bugingo, ne Full Figure n’abalala bangi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.