OMUSOMESA omusajja agambibwa okutigaatiga omuyizi omulenzi nga bava okulambula asindikiddwa ku limanda e Luzira.
Godfrey Muwumuza 43, nga musomesa ng’abeera Gayaza Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso ye yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road eyamusomedde omusango gw’okugezaako okutigaatiga omuyizi n’agwegaana. Kigambibwa nti nga May 5, 2025, abayizi bwe baali bagenze okulambula mu bitundu by’e Mbarara, Muwumuza yatigaatiiga omwana omulenzi ow’emyaka 11.
Kigambibwa nti omulenzi bwe yalaba kimususseeko yakyusa ekifo wabula omusomesa
yamulumbayo n’akola kye kimu. Omulenzi yafuna essimu n’asindikira maama
we obubaka ku mukutu gwa Whatsapp n’amutegeeza ekyali kigenda mu maaso.
Maama yasitukiramu n’agenda ku poliisi n’aggulawo omusango era Muwumuza olwatuuka
ku ssomero nga poliisi yamulindiridde dda n’akwatibwa okutuusa lwe yaleeteddwa mu kkooti.
Omuwaabi wa gavumenti, Ivan Kyazze yasabye kkooti bongerweyo ekiseera okunoonyereza ku musango guno.
Muwumuza yasindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga May 19 okusaba okweyimirirwa
Comments
No Comment