Baleese obujulizi obulala mu gw’okutta Katanga

9 hours ago

OMUSANGO gw’okutta omugagga Katanga guzzeemu oludda oluwaabi ne luleeta akatambi akalaga dokita ng’annyonnyola embeera mweyasanga omulambo gwe n’engeri nnamwandu gyeyali asaliddwa embale.

Baleese obujulizi obulala mu gw’okutta Katanga
NewVision Reporter
@NewVision
31 views

OMUSANGO gw’okutta omugagga Katanga guzzeemu oludda oluwaabi ne luleeta akatambi akalaga dokita ng’annyonnyola embeera mweyasanga omulambo gwe n’engeri nnamwandu gyeyali asaliddwa embale.
Omu ku bawawaabirwa, Dr. Charles Otai yalagiddwa mu katambi ng’annyonnyola muwala w’omugenzi byeyamukubira essimu ng’amutegeeza embeera maama waabwe gye yalimu yenna ng’ajjudde omusaayi n’ebisago.
Nga November 2, 2023 yali yakoze ekiro ekyo mu ddwaaliro era ku makya Patricia Kakwanzi yajjira mu mmotoka n’amutegeeza nti balina omulwadde ali mu mbeera embi era yali nnyaabwe. Dr. Otai yagenda ku mmotoka era yalaba Nnamwandu Molly Katanga ng’atudde mu mutto gw’emabega n’aleeta akagaali ne bamutwala mu ddwaaliro.
Molly Katanga yalina ekiwundu ekinene ku mutwe, n’emisale ku mikono gyombi. Baatandika okumujjanjaba. Kyokka mu katambi Otai agamba nti bwe yabuuza omuwala ekyali kituuse ku nnyaabwe yabategeeza nti yali afunye akabenje.
Nga bamaze okumuwa obujjanjabi obusookerwako ku Bugoloobi Medical Center,
baasalawo okumwongerayo nmu ddwaaliro lya IHK.
Bino byabadde mu bujulizi bwa munnamawulire wa UBC (amannya gasirikiddwa) eyakola ogw’okukyusa amaloboozi ng’agajja ku ‘fl ash’ okugazza
mu bigambo.
Akatambi kalaga Dokita Otai omu ku bawawaabirwa ng’alaga abaserikale engeri gye yatuuka mu maka gano muwala w’omugenzi bwe yamutegeeza nti ne muzeeyi (Katanga) tali mu mbeera nnungi nga yeetaaga atwalibwe mu ddwaaliro.
Omukozi w’awaka yakulembera Otai okumutuusa awaali abawala bombi Martha Nkwanzi ne Patricia abaamutwala mu kisenge gye yasanga Katanga mu kitaba ky’omusaayi.
Otai mu katambi yalaga abaserikale nti Katanga yali aleebeeta ng’omutwe guli ku buliri n’emikono ng’ate amagulu galinnye wansi, yali mu kawale ak’omunda, teyalina ssaati naye ng’avaamu omusaayi. Wabula yagenda okumukebera nga takyassa. Bawal b’omugenzi baamutegeeza nga Katanga bwe yali yeekubye essasi era wano yabalagira bakubire poliisi. Nga bwe balinda poliisi, Otai yagamba nti abawala baalagira omukozi w’awaka asiimuule omusaayi ogwali gubunye mu kisenge. Otai mu katambi yalaga abaserikake nti bwe yamanya nti Katanga yali afudde, yamugolola nga bamwebasizza ku
kafaliso era n’asiba ebigoye ku biwundu ebyali bivaamu omusaayi omuyitirivu ku
mutwe. Molly Katanga avunaanibwa okutta bba Henry Katanga ate bawala be, Otai
n’omukozi w’awaka bavunaanibwa okutaataaganya
obujulizi n’okukweka omuntu gwe baali bamanyi nti azzizza omusango

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.