FDC: Enkambi ya Birigwa eruse pulaani y'okutuuza ttabamiruka

ENKAMBI ya FDC eya Dr. Besigye, Ibrahim Ssemujju ne Loodi Meeya Erias Lukwago baluse pulaani egenda okusobozesa ssentebe Wasswa Biriggwa okutuuza ttabamiruka eyayimiriziddwa poliisi.

FDC: Enkambi ya Birigwa eruse pulaani y'okutuuza ttabamiruka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Dr. Besigye #Wasswa Biriggwa #Erias Lukwago #FDC #Ibrahim Ssemujju

ENKAMBI ya FDC eya Dr. Besigye, Ibrahim Ssemujju ne Loodi Meeya Erias Lukwago baluse pulaani egenda okusobozesa ssentebe Wasswa Biriggwa okutuuza ttabamiruka eyayimiriziddwa poliisi.

Kiddiridde poliisi okuwandiikira Birigwa ebbaluwa nga ssentebe waFDC nga bayimiriza ttabamiruka w'ekibiina gw'ayise nga September 19, 2023 e Busaabala.

Baasinzidde ku bbaluwa gye baafunye okuva ewa Ssaabawandiisi Nandala Mafabi ng'agamba nti Birigwa ky'akola kikontana n'amateeka g'ekibiina.

Poliisi yawadde enjuyi za FDC ezitakwatagana amagezi okutuula ku mmeeza emu batuuke ku nzikiriziganya oba beekubire enduulu mu kkooti z'amateeka okusinga okwegwa mu malaka.

Eggulo ku Lwokuna, Birigwa, Salaamu Musumba n'omumyuka wa ssentebe atwala ekitundu ky'obugwanjuba Roland Kaginda baasisinkanye omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola ku kitebe kya poliisi e Naggulu ne babaako bye bakkaanyako.

WALIWO ABAGENZE MU KKOOTI

Mu ng'eri y'emu kyategeerekese ngabwe waliwo bammemba ba FDC abaagala ttabamiruka wa September 19, abateeseteese okugenda mu kkooti eyise ekiragiro ekigaana poliisi okweyingiza mu by'okutuuza ttabamiruka waabwe.

Kyokka n'enkambi ya Amuriat ne Nandala abawakanya ttabamiruka wa Birigwa tebatudde era bakola buli ekisoboka okulaba nga tatuula.

Abawagizi ba FDC okuli; Arafat Ntale Mwanja, Jamal Wante ne Ssazi Marlick nga bayita mu bannamateeka ba Mangeni Law Chambers baddukidde mu kkooti enkulu eya Civil Division mu Kampala.

Baawawaabidde ekibiina kya FDC, pulezidenti w'ekibiina Patrick Oboi Amuriat ne Nandala Mafabi ssaabawandiisi w'ekibiina nga bagamba nti baalemeddwa okugoberera
ebbanga ly'emyezi esatu egiweebwa mu ssemateeka wa FDC okuyitiramu olukiiko lw'engeri eno.

Ekirala bagamba nti tebayinza kukkiriza ttabamiruka nga ofiisi enkulu okuli eya  Pulezidenti ne Ssaabawandiisi zirekeddwa bbali mu nteekateeka zonna. Abawaabi bagamba bawagizi ba FDC era baasabye kkooti ku lw'obulungi bw'ekibiina ayimirize ttabamiruka ono.

Mu kiseera kino ekibiina kyetemyemu ebiwayi bibiri okuli ekituula ku kitebe e Najjanankumbi ekikulemberwa Amuriat ne Nandala n'ekirala ekikulemberwa Ibrahim Ssemujju ne Erias Lukwago ekiwagirwa Dr. Kiiza Besigye