Ekiwandiiko kya Museveni ku bulamu bwa Besigye

PULEZIDENTI Museveni avuddeyo ku mbeera ya Dr. Kiiza Besigye n’agamba nti eky’okuzira emmere yayagadde kwonoona kifaananyi kya Gavumenti mu kifo ky’okusaba emisango gye giwozesebwe mu bwangu.

Namyalo (wakati) eri abaamawulire eggulo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni avuddeyo ku mbeera ya Dr. Kiiza Besigye n’agamba nti eky’okuzira emmere yayagadde kwonoona kifaananyi kya Gavumenti mu kifo ky’okusaba emisango gye giwozesebwe mu bwangu.
Yagambye nti omusango oguvunaanibwa Besigye gwaggyiddwa mu kkooti y’amagye era enteekateeka zikolebwa awozesebwe mu kkooti za bulijjo. Wammanga kye kiwandiiko kya Pulezidenti mu bujjuvu.
“Ndaba Bannayuganda abakwatiddwaako olw’okusiba Dr. Besigye olw’emisango egy’amaanyi egigambibwa gye yali ateekateeka okuzza. Bw’oba nga ddala oyagala ensi
etebenkedde, ekibuuzo ekituufu kirina kubeera; “Naye Dr. Besigye baamukwatira i?” Eky’okuddamu kiri mu kuwozesebwa mu bwangu amazima gaveeyo.
Aboogera batyo baagala kutabangul  mirembe, ekyobulabe ennyo
eri eggwanga. Tewali muntu mu nsi yonna asobola kutusomesa kutabagana n’okusonyiwa kuba y’emu ku nzikiriza yaffe okuva mu 1960.
Kyokka enkola yaffe era yeesigamye ku kubonereza abazzizza misango naddala abatta Bannayuganda.
Mu kiseera kino tujjukira abantu nga Janani Luwum, Benedicto Kiwanuka, Kingo Chemonges, Edward Muteesa n’abalala. Emirembe gye tulimu n’okuyita ku nguudo ennungi eza kolaasi lwakuba waliwo abalwanirizi b’emirembe beewaayo ne bafufuggaza Idd Amin n’abatemu abalala. Tetuli mu kwesasuza, kyokka ekizibu ky’abatemu kirina okukolwako. Noolwekyo eky’okuddamu ekituufu ku nsonga a Besigye kwe kuwozesebwa mu bwangu.
Ani yalemesa okuwozesa emisango? Zaali kkooti ezaalaga nti kkooti z’amagye zaalina ekibulamu ne balagira emisango gikyusibwe gitwalibwe mu kkooti za bulijjo.
Noolwekyo abawulira nga bakwatib-wako bakola ebintu bibiri. Ekisooka kwe kukyusa fayiro z’emisango nezitwalibwa mu kkooti z’abantu ba bulijjo okuva mu y’amagye era
Gavumenti yaakufuba okuziba emiwaatwa egiri mu kkooti z’amagye. Bw’oba tolina musango, lwaki tosaba omusango gwo ne guwulirwa mu bwangu n’osobola okuwaayo
obujulizi obukakasa nti bakulanga bwemage mu kifo ky’okusaba okuyimbulwa
n’okunoonya okukwatirwa  ekisa, ng’olinga agamba nti
ne bw’ozza emisango egy’amaanyi osobola okulekebwa n’otaayaaya. Ku ky’obulwadde, kisaana kitegeerekeke nti waliyo eddwaaliro lya Gavumenti mu kkomera. Si kyokka,
abasawo ba Besigye nga omuntu abadde bamukyalira mu kkomera era nga bamutwala ne mu malwaliro g’obwannannyini. Bwe waba nga waliwo obwetaavu bw’okufuna  obujjanjabi obusingawo, Gavumenti yandibadde yawabulwa dda. Eky’enjawulo ku Besigye kyava mu kuzira mmere. Kino kye kimu ku kyamuviiriddeko okunafuwa okutuuka mu mbeera gye yalabikiddemu mu mawulire. Kino tekiraga omuntu anoonya okwonoona abalala? Bayinza batya okulumiriza okuzza emisango
egyamaanyi gwe n’osalawo okuzira emmere nga weekalakaasa.
Lwaki tosaba ne bakuwozesa mu bwangu? Kkooti y’amagye yali neetegefu okuwozesa emisango.
Tulinde kkooti y’abantu ba bulijjo,” Museveni bwe yategeezezza mu
kiwandiiko