Eby'okuyimbula munnamateeka wa Besigye bijulidde wiiki ejja

EBY’OKUYIMBULA munnamateeka wa Dr. Besigye bijulidde wiiki ejja kisobozese omulamuzi okwekenneenya ensonga z’atabaddeemu ng’asaba okweyimirirwa.

Eby'okuyimbula munnamateeka wa Besigye bijulidde wiiki ejja
By Margaret Zalwango
Journalists @New Vision
#Musasi #Amawulire #Munnamateeka #Nsonga #Kusaba

EBY’OKUYIMBULA munnamateeka wa Dr. Besigye bijulidde wiiki ejja kisobozese omulamuzi okwekenneenya ensonga z’atabaddeemu ng’asaba okweyimirirwa.

Munnamateeka Eron Kiiza yaakamala ennaku 76 mu kkomera gye yakaligibwa kkooti y’amagye ku Mwenda olw’okugityoboola bwe yali agenzeeyo okuwolereza Dr Kiiza Besigye ne Hajji Obed Lutale gw’avunaanibwa naye.

Loodi Mmeeya Erias Lukwago , Martha Karua Ne Anthony Asiimwe Owa Uganda Law Society Nga Bali Mu Kkooti Okuwulira Okusaba Kwa Kiiza.

Loodi Mmeeya Erias Lukwago , Martha Karua Ne Anthony Asiimwe Owa Uganda Law Society Nga Bali Mu Kkooti Okuwulira Okusaba Kwa Kiiza.

Nga bw’alinda kkooti okuwulira okujulira kwe, Kiiza ng’ayita mu bannamateeka be asaba kkooti emuyimbule ku kakalu nga yeesigama ku ddembe erimuweebwa ssemateeka kubanga waliwo eddembe ly’obuntu okulinnyirirwa ng’ate n’okujulira kwe kulina emikisa mingi okuyitamu.

Bannamateeka ba Kiiza nga bakulembeddwa Nicholas Opio baategeeza kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Mike Elubu nti musajja alina abaana ne ffamire ey’okulabirira ng’okusibwa kwe kubakosa nnyo.

Baayongerako nti alina amaka agenkalakklira mu Central Zzooni e Kiwatule, ng’ekibonerezo ekyamuweebwa kkooti ya magye kyetaaga okwekenneenyezebwa kkooti eno ne basaba kkooti okusaba kwe kukkirizibwe.

Ono yaleese mukyala we Sylvia Tumwebaze, ne bannamateeka, Dr Kabumba ne Primah Kwagala bamweyimirire.

Eron Kiiza Mu Kkooti Enkulu Bwe Yabadde Azze Okusaba Okweyimirirwa.

Eron Kiiza Mu Kkooti Enkulu Bwe Yabadde Azze Okusaba Okweyimirirwa.

 Kyokka okusaba kwa Kiiza kwawakanyiziddwa oludda oluwaabi okuva mu ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti nga beesigamye ku kirayiro ky’omuwaabi wa gavumenti, Joseph Kyomuhendo ne bagamba nti Kiiza taleese nsonga za ssimba kkooti kw’eyinza kwesigama okumuyimbulwa.

Kyomuhendo yayongeddeko nti kkooti y’omulamuzi Elubu terina buyinza bwonna kuwulira nsonga za Kiiza wabula kkooti ya magye ejulirwamu yokka y’erina obuyinza obwo, ng’ate n’ensala ya kkooti ensukkulumu eyaweebwa yalambika emisango egitalina kuwozesebwamu bantu mu kkooti ya magye ng’ennyingo Kiiza mwe yasibirwa teyaliimu.

Ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti yasabye okusaba kwa Kiiza kugobebwe kubanga era okujulira kwe tekujja kuyitamu nga ye bw’agamba mu kusaba kwe.

Abantu be yaleese okumweyimrira tekuli yaleese bukakafu nti alina amaka agenkalakkalira nga bayinza okuba abapangisa so nga n’obuyinza bwabwe okukomyawo Kiiza mu kkooti butono nnyo.

Bwe batyo basabye okusaba kwe kugobwe wabula Ssinga kkooti ekkiriza okumuyimbula, baasabye ateekebweko obukwakkulizo obukakali okumuwaliriza okudda mu kkooti.

Wadde oludda oluwaabi lwakubye ebituli mu kusaba kwa Kiiza, bannamateeka be baakalambidde ku nsonga zaabwe munnamateeka munnamwe ayimbulwe. Oludda oluwaabi luliko Timothy Amerit.

Omulamuzi Elubu waakuwa ensala ye nga April 4, 2025.