Amawulire

Eyagaana okudda mu kkooti asindikiddwa Luzira

OMUVUBUKA gwe baawa akakalu ka kkooti n’abula, bakutte omu ku baamweyimirira n’amulonkoma n’addamu okukwatibwa nga kati atemeza mabega wa mitayimbwa e Luzira.

Tumukunde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUVUBUKA gwe baawa akakalu ka kkooti n’abula, bakutte omu ku baamweyimirira n’amulonkoma n’addamu okukwatibwa nga kati atemeza mabega wa mitayimbwa e Luzira.
Jackson Tumukunde ye yali yaweebwa akakalu ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ku by’okubulankanya ssente za kkampuni esunda amata ga Sibyangu e Kyankwazi kyokka oluvannyuma n’abula.

Kigambibwa nti ono yali akola gwa maneja ku kkampuni eno kyokka yagifiiriza liita z’amata 7,816 ezibalirirwamu obukadde munaana n’ekitundu nga byaliwo wakati wa July ne August 2023.
Mu bujulizi obwamuweereddwako omubalirizi w’ebitabo mu kitongole kino, Benjamin Ogema, yategeezezza omulamuzi Adams Byarugaba nti, Tumukunde yali yaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okukungaanya amata mu balunzi e Kyankwazi nga bw’agaweereza e Kampala wabula yafuuka nnamunswa alya ku nswa ze n’atandika okwetoolerako nga bakama be tebamanyi.
Kyazuulibwa nti n’amafuta ge baamuwanga okusaabaza amata nago yeggyirangako agage nga bwe yakwatibwa yali yaakabba agabalirirwamu akakadde kamu n’emitwalo abiri.
Mu kkooti, Tumukunde yategeezezza omulamuzi nti bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa Ngo n’agamba nti bakama be bazibu nnyo, yali ababanja omusaala kyokka olwajjako e Kampala baamukwata awatali nsonga.
Yasabye kkooti okumuyimbula ku kakalu kaayo kyokka omulamuzi n’amujjukiza nti olwakamuwa okusooka ate yafuuka musu gw’e Kanyanya nga n’okuddamu okumufuna baasooka kukwata omu ku baamweyimirira era okusaba kwe n’akusuula mu kasero. Guddamu April 2, 2025.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: