Ettaka ly’ewa Kisekka liyuzizza mu famire ya Haji Katongole

ABAFFAMIRE ya Haji Musa Katon­gole eyali owa UTODA bongedde okweyuza ng’entabwe eva ku ngab­ana y’ettaka erya yiika ezisoba bbiri erisangibwa mu zooni ya Industrial Area e Makerere awamanyiddwa ng’ewa Kisekka.

Omu ku bannamwandu ba Katongole ng’afuluma kkooti eggulo..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Ettaka #Kisekka #liyuzizza #famire #Haji Katongole

Bya Ponsiano Nsimbi

ABAFFAMIRE ya Haji Musa Katon­gole eyali owa UTODA bongedde okweyuza ng’entabwe eva ku ngab­ana y’ettaka erya yiika ezisoba bbiri erisangibwa mu zooni ya Industrial Area e Makerere awamanyiddwa ng’ewa Kisekka.

Obutakkaanya buno buli wakati w’omu ku bannamwandu Fatu­mah Katongole, abamu ku baana n’abooluganda lwa Katongole era eggulo abamu ku baana ne bannamwandu nga bakulembed­dwaamu balooya baabwe, baagenze mu kkooti evunaanyizibwa ku nson­ga z’amaka e Makindye ew’omul­amuzi Elizabeth Kabanda wabula bano tebaasobodde kumulaba era abayambi be ne babawabula okud­dayo ensonga zaabwe baziteeke mu buwandiike olwo balyoke baddeyo okufuna olunaku omulamuzi kw’anaaziwulirira.

Mwannyina Wa Katongole Ku Kkooti.

Mwannyina Wa Katongole Ku Kkooti.

Wakati mu kwekandagga nga bafuluma kkooti e Makindye, ban­nyina ba Katongole abaabaddewo baategeezezza nga bwe bategenda kuleka mmaali ya mwannyinaabwe n’abaana baabwe kutwalibwa era baalumirizza omu ku bannamwan­du okwagala okwekomya yekka ebintu bya Katongole.

Okuva emmaali ya Haji Katon­gole lwe yagabibwa mu nkola eya Sharia, bannamwandu, bamulekwa n’abooluganda bazze basika omu­guwa nga bawakanya engeri gye yagabanyizib­wamu. Baatuu­ka n’okutwala mu kkooti abakulembeze bw’Obusiraamu e Kibuli omuli ne jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu.

Omulangira Nakibinge baamu­wawaabira n’abantu abalala basatu okuli Haji Haruna Kalule Kibi­rige, Hajji Muhamood Katongole, Abubaker Kaweesi ne batwaliramu ne ofiisi ya Supreme Mufti wa Uganda.

Omusango guno nnamba 405/2022, abaana baaguwaabye mu kkooti etaawulula ensonga z’amaka e Makindye, ng’entabwe yavudde ku kye baayise kyekubiira, okunyig­irizibwa n’okusosolebwa mu ngaba y’emmaali ya kitaabwe.

Ettaka erikaayanirwa liriko abasenze n’ekifo we booleza mmo­toka kyokka ssentebe w’ekitundu kino era kkansala akiikirira omulu­ka gwa Kagugube, Kassim Lubowa Musisi yategeezezza nti omwaka oguwedde abaffamiire ya Katongo­le baamutuukirira mu butongole nga bamutegeeza nga bwe balina enteekateeka z’okukulaakulanya ettaka lyabwe.

 

Agamba nti bano baamutegee­za nga bwe bagenda okuliyirira abantu bonna abali ku ttaka lino era enteekateeka eno egenda mu maaso nga waliwo n’ennyumba ezaamenyebwa oluvannyuma lw’ok­usasula bannyini zo.

Haji Katongole ye yali ssentebe wa UTODA mu Uganda. Yafa March 31, 2021 n’aleka emmaa­li evuluuja mu Kam­pala, Wakiso, Kayunga n’ebitundu ebirala.

Katongole yaleka abaana abawera ne bannamwandu basatu kyokka abaana munaa­na okuli; Aisha Nakyan­zi Katongole, Muham­ood Katongole Jr, Hanifa Nassaazi Katongole, Halima Namugenyi, Maimuna Namisango, Hadijja Nabaweesi, Mariam Namaganda ne Joweria Nabakooza nga bayita mu bannamateeka ba Tumukunde & Co.Advocates baddukira mu kkooti ekola ku nsonga z’amaka.

Okusinziira ku biwandiiko ebiri mu kkooti e Makindye, Bukedde bye yafunyeko kkoppi, omusango gwateekebwayo September 23, 2022 era abawawaabirwa okuli n’Omu­langira Nakibinge baaweebwa wiiki bbiri okuteekayo okwewoozako kwabwe.

Bano nga bayita mu bannamatee­ka baabwe aba Bakidde & Hannan Advocates baateekayo okwewo­zaako kwabwe.

Okusinziira ku kiraamo kya Ka­tongole, ebyobugagga bye byalina okugabibwa nga bagoberera enkola y’Obusiraamu eya Sharia.