BANNANNYINI ttaka bawakanyizza enteekateeka empya Gavumenti gye yaleese ku busuulu bwe yagguddewo akawunti mu Bbanka Enkulu abeebibanja kwe banassa ssente singa ab’ettaka bagaana okuzikwata oba beebulankanya. Bino biddiridde minisita w’Ebyettaka, Judith Nabakooba okulangirira nti Gavumenti yataddewo akawunti nnamba 00120088000068 mu mannya ga Ministry of Lands – Ground Rent (Busuulu) mu Banka Enkulu abeebibanja kwe bagenda okutandikaokusasula ssente za busuulu
kimalewo entalo n’embiranye wakati waabwe ne bannannyini ttaka ababadde batazikkiriza.
Bannannyini bibanja bajaganya nti pulaani n’enteekateeka yonna gye bazze basaba Gavumenti yagibakoledde era kati balindiridde kutuukiriza mitendera gyokka batandike okutwala ssente mu bbanka.
Kyokka bannannyini ttaka abeebagattira mu kibiina ekya Uganda Land Owners Association bavumiridde Gavumenti nti enteekateeka eno egenda kwongera ntalo za ttaka mu ggwanga kubanga yakoleddwa tewali kwebuuza ku njuyi zombi era bo nga bannannyini ttaka bali mu nteekateeka za kutwala musango
mu kkooti.
Ssentebe w’ekibiina kino, James Galabuzi Mukasa yategeezezza nti ettaka ly’obwannannyini lirina enjawulo ku lya Gavumenti. “Gavumenti bw’eba erina ky’eyagala okukyusa ku bwannannyini bw’ettaka ly’omuntu eteekeddwa okumwebuuzaako era n’ekikola mu kukkaanya naye wano tetwakkaanyizza,” Mukasa bwe yagambye.
N’alambulula nti ani agenda okukakasa nti nnannyini kibanja asasulira busuulu ku ttaka lye y’oyo nnannyini kibanja omutufu? “Bangi beesenzezza ku ttaka lyaffe nga tetubamanyi ng’osanga yakolerako dda ebintu naye nga tewali amuguzizza.
Bannannyini ttaka be bateekwa okukakasa omusenze ku ttaka omutuufu naye enkola eno
ebaleka bbali,” Mukasa bwe yagambye.
Yategeezezza nti Gavumenti ebadde eteekwa kusooka kuwandiikira abeebibanja
bonna abatudde ku ttaka ly’omuntu n’eyita nnyiniryo okukakasa oba abamanyi awo
abamanyiddwa ne bakkiriziganya nti basasule busuulu kyokka obuyinza obwo yabubaggyeeko n’ebukwasa bakulembeze ba byalo na miruka ekitali kituufu.
Nnannyini ssomero lya Mityana Heroes P/S era alina ettaka, Fred Kyaka yagambye nti Gavumenti eyaleeta enfuga y’amateeka ennyikiza nti omuntu taggyibwengako ddembe lye ku kintu kye ate eyagala kugayisaamu lugaayu. Yasabye nti Gavumenti ereke amateeka gakole nga nnannyini kibanja ne bannannyini ttaka abatuufu batuula ku mmeeza ne bakkiriziganya. Yawadde ekyokulabirako nti yagula ettakanga kuliko bannannyini bibanja ne bateeseganya ne bamuguza ebibanja byabwe.
Nti baalaba taliiwo ne bakolagana n’abakulembeze b’ebyalo ne baddamu ne babitunda buto olutalo ne lusitukawo ng’embeera bwe ziti nnyingi mu byalo ng’ekolebwa ba LC ne bannannyini bibanja kati bw’ebakkiriza okusasula busuulu mu mbeera eyo ani aba nnannyini kibanja omutuufu ate nga aba LC bakola endagaano ezisoba mu emu. Kyaka yasabye nti Gavumenti ekkirize amateeka gakole kubanga essiga ly’amateeka lyetongodde okuwuliriza emisango n’essiga lya Palamenti erikola amateeka nalyo likola nga bwekiri ku ssiga effuzi okuba nga nalyo likola bulungi.
Bannannyini bibanja abaabuganye essanyu baategeezezza nti abamu ku bannannyini ttaka babanyigiriza, tebakkiriza busuulu nga baagala babasaleko ebibanja byabwe ate ne bwe bateesa okwegula babaleega ssente babalemese era enkola eno ebawonyezza Wabula ssentebe wa bannannyini bibanja, Abraham Luwalira yasanyukidde enteekateeka eno n’ategeeza nti Gavumenti we yaleetedde enkola eno ng’egeze-zzaako
ku makubo amalala mangi okumalawo enkaayana ku ttaka naye nga
egayamba.
Yategeezezza nti buli lunaku bannannyini ttaka beekwasa ensonga ez’enjawulo banyigirize bannannyini bibanja babibatwaleko mu nkola eteri ntuufu.
SSENTE EZISASULWA
Ssente za busuulu ezisasulibwa ababeera mu City 50,000/-. Ababeera mu munisipaali 40,000/- Aba Town Council 30,000/-. Mu Town Board 20,000/- ate abalina ebibanja mu byalo 5,000/-. Omwogezi wa minisitule y’Ebyettaka, Denis Obbo yagambye
nti akawunti okusasulibwa ssente esangibwa mu buli bbanka nga eri 00120088000068. Eri mu mannya ga Ministry of Lands – Ground Rent (Busuulu).
EBIRINA OKUKOLEBWA
Obbo yagambye nti okussa ku akawunti ssente; Bannannyini bibanja basooka
kukakasibwa LC okuli ekibanja nti ddala ye nnannyini ne nnannyini ttaka ne bamwogera. Ebiwandiiko bya nnannyini kibanja byongera okwekeneenyezebwa
owoomuluka n’oweggombolola.
Nnannyini ttaka okuggyayo ssente za busuulu ateekwa okukakasibwa
bannannyini bibanja ebyo nti ye mutuufu