EMPAKA z'amasaza ga Buganda ez'omulundi ogwa 21,zitongozeddwa ku mukolo ogubadde ku mbuga y'Obwakabaka enkulu e Bulange-Mmengo.
Omupiira ogugenda okuggulawo Empaka zino guli wakati wa Buddu ne Gomba nga gugenda kuzannyibwa ku Lwomukaaga luno ku Kisaawe Kya Kitovu Arena mu kibuga Masaka.
Bwabadde atongoza Empaka zino, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nga Kabaka bwayagala empaka zino okukulira ddala okusinga bweziri kati.
Mayiga agambye nti olw'ensonga eyo, Kabineeti y'Obwakabaka kyeyava eyisa ebiteeso okuli okufuula Ttiimu z'amasaza kiraabu saako n'okuzimba ebisaawe mu buli ssaza.
Katikkiro Mayiga ng'ayogera
Minisita w'emizannyo, Ssaalongo Robert Sserwanga asinzidde wano n'ategeeza ng'omupiira gw'amasaza bwegukoze ekinene mu kutondawo emirimu nga ku buli mupiira kubeerako emirimu 50000.
"Mu mpaka z'omulundi guno tugenda kusamba emipiira 108 okuva June 21,2025 okutuusa November 1,2025 lwetunazanya Fayinolo," Sserwanga bwagambye.
Ssentebe w'Olukiiko oluvunanyizibwa ku kutegeka Empaka zino, Hajj Sulaiman Ssejjengo agambye nti Abazannyi 22 abaasamba omwaka oguwedde nga bwebatagenda kuddamu kusamba mu Masaza kubanga baatwaliddwa Ttiimu za liigi ya Uganda ate abalala baagenze mu kiraabu z'ebweru.
"Abazanyi 22 abaali mu Mpaka ez'omwaka oguwedde tetugenda kubeera nabo kubanga baasumusiddwa okugenda okwegatta ku Ttiimu endala. Tumaliriza okubaga amateeka okugenda okutambuliza empaka zino era buli Ttiimu gagenda kuziweebwa. Nneebaza abakulira Ttiimu,abaami b'amasaza ate ne Fufa," Hajj Ssejjengo bwayogedde.
Ssentebe w'abaami b'amasaza Kkangaawo Ronald Mulondo obubaka bwe, butuusiddwa Omwami w'essaza ly'e Mawokota Kayima Sarah Nannono Kaweesi n'asaba bonna abakwatibwako empaka zino okukuuma empisa.
Empaka zino ziwagirwa aba Airtel ng'abavujjirizi abakulu, Centenary Bank ng'agikulira Fabian Kasi alangiridde nga bwe bagenda okuteeka obukadde 200 mu mpaka z'Omwaka guno.
Abavujjirizi abalala kuliko Plascon, UNAIDS , Uganda Aids Commission, Pilsner, Majestic Brands n'abalala.
Edgar Watson nga y'akulira emirimu mu FUFA, ekibiina ekitwala omupiira mu Uganda yeeyamye nti bagenda kugenda mu maaso n'okuwagira empaka zino mu ngeri yonna esoboka era neyeebaza abaziddukanya olw'okutambula obulungi n'ekibiina kino.