Amawulire

Omukozi wa waka agambibwa okuwamba omwana wa mukama we n'abulawo naye bamuyigga

Poliisi e Kira, eri mukuyigga omukozi w'awaka, agambibwa okuwamba omwana wa mukama we ow'emyaka Omukaaga, n'abulawo naye.

Omukozi wa waka agambibwa okuwamba omwana wa mukama we n'abulawo naye bamuyigga
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Kira, eri mukuyigga omukozi w'awaka, agambibwa okuwamba omwana wa mukama we ow'emyaka Omukaaga, n'abulawo naye.

David Muchunguzi nga mukozi mu nnimiro ewa Dr. Emannuel Tumwesigye era ng'abeera mu zooni ya Ddungu e Kisaasi mu Kawempe municipity e Kampala, y'ayiggibwa oluvannyuma lw'okubula n'omwana Abraham Tumwesigye Mpiirwe .

Kigambibwa nti yabuzeewo n'omwana ono ku Lwokutaano ku ssaawa kkumi.

Omwana Mpiirwe, azaalibwa Dr. Emmanuel Tumwesigye omutuuze mu zzooni ya Ddungu era ng'omusango gw'okuwamba omwana, gwagguddwawo ku Universal Police post era  poliisi esabye yenna amanyi amayitire g'abantu bano, okugitemyako, okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala.

Tags:
Amawulire
Kuwamba
Kubulawo