Amawulire

Abavubuka abagambibwa okutigomya Wakiso bakwatiddwa

Abavubuka 10 abagambibwa okubba, okutemula n'okutulugunya abatuuze b'e Kira mu Wakiso, bakwatiddwa poliisi. 

Abamu ku bavubika abakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abavubuka 10 abagambibwa okubba, okutemula n'okutulugunya abatuuze b'e Kira mu Wakiso, bakwatiddwa poliisi.

Mu kiwekweto kino ekikoleddwa e Buwaate ne Najjeera ekiro, abebyokwerinda era bayodde enjaga ewerako omuli enziinge mu bupapula, eyobusigo n'ebikoola nga nkalu.

Emisokoto gy'enjaga egisangiddwa n'abavubuka

Emisokoto gy'enjaga egisangiddwa n'abavubuka

Kitegeezeddwa nti abakwate, babasanze banywa enjaga nga n'ebiseera ebisinga bwe bamala okuvaako ng'enjogera y'ennaku zino bweri, olwo ne batigomya abyalo. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, ategeezezza nti bonna bakuumirwa ku poliisi e Kira nga bwe bamaliriza fayiro yaabwe,basobole okubatwala mu kkooti

Tags: