OKUSABA Maya Musuuza kwe yakoze mu kukuza amazaalibwa ge, kwatadde Eddy Kenzo ne Rema Namakula mu kattu ne baddamu okusisinkana ne beekubye n’ebifaananyi.
Maya yabadde ajaguza emyaka 13 era n’ayagala Rema Namakula, gwe yabeerako naye ng’amuyita maama abeewo beekubye ebifaananyi, okulya n’okunywa bonna wamu.
Kyokka abaabadde ku kabaga kano batubbiddeko nga Rema bwe yasoose okuwa obukwakkulizo obukakali okujja ewali Kenzo, eyali muganzi we era nga balina n’omwana bombi.
Akasooka, yasabye Kenzo nti bw’aba ayagala abeere ku kabaga kano, Phionah Nyamutoro (mukyala Kenzo) ne Dokita Hamza (bba wa Rema) balina okukabeerako.
Mbu mu kino, Rema yabadde yeewala ebifaananyi okufuluma ng’ali ne Kenzo bokka. Akakwakkulizo akalala, Rema yasabye akabaga bakateeke ku wooteeri emu e Nsambya gye yeesiga nti y’etejja kusaasaanya bifaananyi byabwe.
Byonna byatuukiriziddwa era Rema n’ayingirawo ne Hamza n’abantu abalala okuva mu ffamire zaabwe ate olwo Kenzo ne Nyamutoro nabo ne babaawo ne beekubya ebifaananyi eby’awamu