Amawulire

Engeri owoolubuto gye yasimattuka okufiira mu kubumbulukuka kw’ettaka

Engeri owoolubuto gye yasimattuka okufiira mu kubumbulukuka kw’ettaka

Aba MIFUMI badduukirira Chebet (asitudde bbebi) n'ebyetaagisibwa awaka
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

Risper Chebet 19, akyalojja ekiro kya October 30, 2025, nnamutikkwa w’enkuba bwe yabumbulula ettaka ne lisaanyaawo amaka ge. Enjega eno yagwawo mu magombolola agawera mu disitulikiti y’e Kween okukkakkana ng’abantu abawera balusuddemu akaba nga n’abalala babundabunda

Abadduukirize nga basimayo abatuuze abaazikibwa ettaka omwaka oguwedde

Abadduukirize nga basimayo abatuuze abaazikibwa ettaka omwaka oguwedde


Kw’olwo, eyo mu matumbibudde, Chebet eyali mu nnyumba ne bba ne mutabani waabwe ow’emyaka ebiri, agamba nti baawulira ekikuba ku nnyumba era okudda engulu ng’abadduukirize bali mu kubasika mu mukoka n’ebisooto. Baasimattuka okufa kyokka tebaasigaza kantu. Eby’omunju, ebisolo n’ennimiro byonna byaggwawo. 
Kyokka, Chebet omutuuze ku kyalo Dara Parak Upper yali asulirira kuzaala. Ennaku bbiri agamba nti baasula mu mpewo nga n’ekyokulya bawammanta kiwammante.

Chebet yagula endiga okuggyamu ssente

Chebet yagula endiga okuggyamu ssente


Naye oluvannyuma gavumenti n’ebitongole by’obwannakyewa byabadduukirira. Chebet yafuna ennyumba kyokka yali akyali mu kiyongobero bba n’atandika okumutulugunya. Yaddanga ewaka amatumbibudde ng’atamidde n’amukkakkanako n’amukuba. 
Kitaawe wa Chebet yamufumbiza wa myaka 17 oluvannyuma lw’okufuna olubuto nga yaakayingira siniya.  Embeera bwe yamusukkako, yaddukira mu kitongole kya MIFUMI  ekirwanirira eddembe ly’abakyala. Justine Chelimo akulira Tabagon Advise Center agamba nti baayaniriza Chebet ai ne bayita ne bba era ne babatabaganya. Baamulabula ku kabi akali mu kutulugunya omukyala ne yeetonda era kati bakolagana bulungi. 

Justine Chelimo akulira Tabagon Advise Center

Justine Chelimo akulira Tabagon Advise Center


Oluvannyuma Chebet baamuwa obuyambi omwali; omufaliso, ebyetaagisibwa mu kuzaala,  emmere, amaseffuliya n’ebyetaago bya bbebi ng’engoye n’ebizigo. 
Kuno aba MIFUMI baagattako okumuwa kkapito wa sh500, 000 kwe yagula endiga ssatu n’okutandikawo bizinensi y’okutunda enva endiirwa mw’aggya ssente ezibabeezaawo
Tags: