KATONDA kwagala abeera mu kwagala abeera mu Katonda ne Katonda abeera mu ye.
1. Okwagala kwa Katonda y’ensibuko y’okutuwa obukuumi;“Kubanga ntegeeredde ddala nga newankubadde okufa, newankubadde obulamu, newankubadde ba Malaika, newankubadde abafuga, newankubadde ebiriwo, newankubadde ebigenda okubeerawo, newankubadde amaanyi, newankubadde obugulumivu, newankubadde okugenda wansi, newankubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu.” (Bar. 8:38-39).
Mu kisiibo kino tufuna okugumizibwa era n’emirembe okumanya nti tuli babe mu mbeera zonna. Tubeera bagumu mu kwagala kwe era nti tetulina kutya oluusi ne bwe waba nga waliwo eby’obulumi bye tuyitamu.
2. Okwagala kwa Katonda kwesigika;
“Kwe kusaasira kwa Mukama waffe ffe obutamalawo kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Kiba kiggya buli nkya, obwesigwa bwo bungi.” (Kung.3:22-23).
Lowooza ku kwagala kwa Katonda na byonna by’akuyisizaamu. Katonda akolera mu bulamu bwaffe era atufaako. Oluusi ebimu abituwa nga tetutegedde.
Ne bwe tuyita mu bitusoomoza Katonda asigala nga yeesigika. Buli lukya Katonda atulaga ekisa ekiggya. Tetweraliikirira Katonda tayinza kuziyiza kwagala kwe gye tuli.
3. Okwagala kwa Katonda kutunoonya;
“Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kuba bwe twali nga tukyali mu bibi byaffe Kristo n’atufiirira. (Bar. 5:8)
Olw’okuba Katonda atwagala era ateekawo ebiseera nga bino wabeerewo entegeeragana n’enkolagana, naye nga Katonda waffe. Katonda atulaga ekisa ekyo mu kifaananyi kyo Musumba aleka endiga 99 okunoonya eyo emu ebuze. Mat.18:12-14.
Tetulina kye tukola olw’amanyi gaffe oba obukugu bwaffe oba olw’okufuba kwaffe, Katonda alyoke ategeere nga we tuli, naye ye yatutonda era ateekawo enkolagana naffe.
4. Okwagala kwa Katonda kumuleetera okutusanyukiramu; “Mukama Katondawo ali wakati wo, ow’amaanyi anaalokola, ali kusanyukira n’essanyu, alimuwulira mu kwagala kwe, alikusanyukiranga ayimba.” (Zef.. 3:17). Okwagala kwa Katonda gye tuli si luwalo naye atusanyukira.
Asanyuka okutuyira okwagala kwe era n’okulaba nga tubeerawo n’essanyu.
Atubudaabuda nga tweraliikirira, atukkakkanya nga tutidde era asanyukira obuwangazi bwaffe.
Kuba ekifaananyi Katonda okukusanyukira ng’ayimba!
5. Okwagala kwa Katonda kutufuula baggya; “Omuntu yenna bw’aba mu Kristo ky’ava abeera ekitundu ekiggya; ebyedda nga biweddewo; laba nga bifuuse biggya.” (Kol. 5:17). Tujja eri Katonda nga bwe tuli naye tatuleka bwatyo. Atwagala nnyo bwatyo tatuleka nga bwe tubadde.
Waliwo ebintu bingi byagenda akyusa mu bulamu. Afaayo okulaba ng’atutuusa ku mutindo gw’ayagala.
Katonda alina bingi by’atutegekedde era n’obulamu obutaggwaawo kubanga okwagala kwe kumala. Okwagala kwe kumala okutusobozesa okuyita mu byonna bye tuyitamu