Ebizuuse ku bantu 12 ababuzeewo mu Kampala okwegatta ku ba ADF

ABANTU 12 okuva mu ffamire ttaano nga babadde babeera Lukuli-Konge mu ggombolola y’e Makindye mu Kampala tebamanyiddwaako mayitire oluvannyuma lw’okuggalawo ennyumba mwe babadde basula ne bizinensi ze babadde baddukanya ne babulawo.Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, bwe yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire e Naggulu ku Lwokubiri yategeezezza nti, bateebereza ng’abantu bano baagenze kwegatta ku kibiina ky’abayeekera ekya ADF.

Ebizuuse ku bantu 12 ababuzeewo mu Kampala okwegatta ku ba ADF
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU 12 okuva mu ffamire ttaano nga babadde babeera Lukuli-Konge mu ggombolola y’e Makindye mu Kampala tebamanyiddwaako mayitire oluvannyuma lw’okuggalawo ennyumba mwe babadde basula ne bizinensi ze babadde baddukanya ne babulawo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, bwe yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire e Naggulu ku Lwokubiri yategeezezza nti, bateebereza ng’abantu bano baagenze kwegatta ku kibiina ky’abayeekera ekya ADF.
Yagambye nti, ezimu ku ffamire ezadduse kuliko eya; Abdu Rahman Sseruwenda, Abdu Rashid Ssemaganda, Ashiraf Lusiba, Ibrahim Kintu ne Hussein Waliggo.
Kigambibwa nti bano babadde balina bbuca y’ennyama nga balina n’amaduuka agatunda cakalacakala naddala owa pulasitiika ge baddukanya so ng’abalala babadde bavuga bodaboda. Abatuuze ababadde babeera ne ffamire zino baategeezezza nti, enneeyisa yaabwe ebadde nnungi nga tewali abasuubiriza kuba nga balina akakwate ku bikolwa by’obuyeekera oba obutujju.
Okunoonyereza okukoleddwa ebitongole by’ebyokwerinda kulaga nti, bano baasoose kutunda bintu byabwe oluvannyuma ne basiibula bannaabwe. Bano era baalese obutambi bw’amaloboozi nga bategeeza nti, baabadde basazeewo okugenda okwegatta ku kibiina ky’Abasiraamu ekisinga obuganzi mu nsi yonna, era ne bagamba nti tewali Musiraamu yenna asinga abo abali mu kulwana wansi wa ADF.
Mu kiseera kino, ebitongole by’ebyokwerinda ebirwanyisa obutujju byatandise dda okusamba ensiko okulaba nga babalondoola yonna gye baalaze okulaba nga bakwatibwa.
Poliisi yategeezezza nti nga beesigama ku kyaguddewo, bagenda kulaba nga bateeka essira okulondoola ebikolebwa mu masinzizo n’amaka g’abamu ku bantu be beekengera okusobola okwahhanga abo abagezaako okusikiriza n’okuwandiika abantu okubayingiza obutujju. Poliisi era yalabudde abazadde okwewala okuwaayo abaana okwewala okuyingizibwa mu buyeekera.
ABAAGUZE EBINTU BYABWE
Kigambibwa nti ebimu ku bintu ebyatundiddwa baabiguzizza omusuubuzi w’omu Kampala eyategeerekese nga Hajji Badru, akolera mu Lufula.
Awali Muluuta, yategeezezza Bukedde nti Hajji Badru ye yaguze bbuca yaabwe era n’amuwa omulimu ng’ali ne Abdu Rashid Ssemakadde.
Muluuta yagambye nti mu Kampala agenda kuwezaamu omwaka okuva lwe yava ku kyalo Makuutu, mu disitulikiti y’e Bugwere, era nga yasookera mu kutunda nkoko.
EBIKWATA KU BAABUZE
Abdu Rashid Ssemaganda, omu ku bagambibwa okubulawo ne ffamire ye, kyazuuliddwa nga Yasiramuka bukulu era nga yali amanyiddwa nga Richard Ssemaganda ng’azaalibwa Ssanje mu disitulikiti y’e Kyotera. Yabuzeewo ne mukaziwe Sarah Namuli ne muwala wa Mugerwa, era nti alina oluganda ku Abdul Rahman Sseruwenda, naye eyabuzeewo.
Sseruwenda, kigambibwa nti y’abadde omutwe omukulu mu bizinensi y’okutunda ennyama ku bbuca eyitibwa Muslim Smart Butcher, esangibwa mu zzooni ya Lower Konge e Makindye. Landiroodi waabwe, Nnamwandu Teo Nakakande yategeezezza nti buli mwezi babadde bamusasula emitwalo 20, era nga basasula bulungi nga n’empisa nnungi.
Yagambye nti amaze nabo ebbanga kumpi lya myaka 10 newankubadde ng’ebiwandiiko ku kakiiko k’ekyalo biraga nti ku kitundu kya Lower Konge, baasengako emyaka esatu emabega.
Hussein Waliggo, azaalibwa ku kyalo Kyagagalire mu disitulikiti y’e Lwengo, kyazuuliddwa nga naye yabuzeewo ne mukaziwe, Rabia Nakalyango. Mutabani wa Sheikh Ddumba, eyategeerekeseeko erya Gaggawala, era nga y’avunaanyizibwa ku bapangisa ku nnyumba zaabwe, yategeezezza nti Waliggo ne mukaziwe baasenguka okuva ku nnyumba zaabwe wiiki bbiri emabega nti ekibuga kigaanyi kwe kusalawo adde mu kyalo.
Abalala abaabuzeewo ye Shakirah, ng’ono abadde yaakawoowebwa ne Ashiraf. Baabuzeewo n’abaana baabwe babiri. Maama wa Shakirah eyategeerekese nga Sumayiyah, omutuuze w’omu zzooni y’e Luwafu mu divizoni y’e Makindye, yategeezezza nti, muwalawe omulala Sharifah ng’abadde ne bbebi, naye talabikako era nga kiteeberezebwa okuba nga naye yabuzeewo kuba essimu ze bazikuba teziyitamu nga ne ku nju kw’abadde apangisa mu zzooni ya Kibalama, baagenzeeyo ne babategeeza nti yasenguse.
Kigambibwa nti Shalifah w’abulidde abadde agugulana ne bba Ibra, ng’ayagala amuwe omwana gwe yamuzaalamu.
Shakirah ne Sharifah, be babadde baddukanya edduuka eribadde litunda cakalacakala , ate abasajja abamu babadde mu bbuca y’ennyama, abalala nga bavuga bodaboda, n’okusuubula ebisolo.
OMUYIGGO GULI MU GGIYA
Kigambibwa nti ebitongole by’ebyokwerinda omuli ekikettera mu poliisi ekya Directorate of Crime Intelligence (CI) ekikulirwa Brig.Gen. Chris Ddamulira, ekya Chieftaincy Military Intelligence (CMI), ISO, n’ekya Counter Terrorism (CT) bikola butaweera okulaba nga bizuula abantu bano.
Ensonda zaategeezezza nti ezimu ku ssimu zaabwe zaakomye okubaako nga zisikira ku mirongooti gy’oku nsalo ya Uganda ne DR Congo.
Okunoonyereza era kulaga nti ffamire zaabwe zibadde zikyusakyusa ebifo gye babeera okuli; Lukuli-Upper Konge, Lukuli-Lower Konge, Kibalama zzooni, Luwafu zzooni, Kyotera, Masaka, Luwero n’ebitundu ebirala.
Bino we bijjidde nga poliisi yaakavaayo n’etegeeza nti waliwo abasajja babiri okuli; Ngoma Ndagala, 58 ne Fikiri Nyankasigye 23, be yakutte nga bagezaako okusala okuyingira e Congo.
Poliisi egamba nti bano baabeekengedde okuba abakyamu era olwabazizza ne babasanga n’obutundutundu bw’ebyuma ebyamasannyalaze, obumu ku bweyambisibwa mu kukola bbomu ennyangu