Engeri gy’ogoba ebbugumu erikuyiikidde mu mubiri

Apr 24, 2024

OMUNTU okufuna ebbugumu eritali lya bulijjo ke kamu ku bubonero obulaga nti omubiri gulimu obukosefu obw’enjawulo

First Aid

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

OMUNTU okufuna ebbugumu eritali lya bulijjo ke kamu ku bubonero obulaga nti omubiri gulimu obukosefu obw’enjawulo.
Oluusi guyinza okuba omusujja oba nga omubiri gukoseddwa mu ngeri endala. Kyokka bw’oba waakafuna ebbugumu, waliwo by’osobola okukola n’olikkakkanya okwewala ate ebizibu eby’enjawulo by’osobola okufuna singa ligenda lyeyongera.
Abasawo nga bayita ku mukutu gwa https://www.medicalnewstoday.com bakulaze by’olina okukola okukkakkanya ebbugumu bwe liba likulumbye.
1. Nywa amazzi agannyogoga: Singa owulira ebbugumu mu mubiri, olina okunywa amazzi agannyogoga oba bbaalaafu omubiri ne gusobola okuweweera. Kyokka tolina kuganywa ‘kattukattu’ kubanga ate omubiri oyinza okugukanga.
2. Genda mu kifo ekiweweevu: Singa ebbugumu oliwulira, genda mu kifo ekiweweera gamba nga ku lubalama lw’ennyanja. Wano omubiri gujja kukkakkana n’ebbugumu ligende.
3. Genda mu kidiba owuge: Ebbugumu bwe likukwata ng’omanyi okuwuga oba ng’olina n’ekidiba ewuwo oba okumpi, kigweemu, oweweere. Naye atamanyi kuwuga teweetantala.
4. Weeyiseeko ekiwero: Kino oba ekintu kyonna ekinnyogoga olina okukiteeka mu bitiundu gamba nga ku bigere, ku mutwe oba mu kifuba. Naye tandikira ku bigere nga bw’oyambuka oleme kukanga mubiri.
5. Tokola bintu bikakaalukanya mubiri: Singa owulira ebbugumu mu mubiri, totambulatambula. Weewale okukola duyiro. Singa okol  bintu ebikukooya, ate ebbugumu lyandyeyongera. 6. Tolwawo kulaba musawo: Singa ebbugumu likukwata era n’owulira ng’omubiri gwokya, olina okukola ekisoboka okulaba omusawo
mu bwangu asobole okumanya kwe livudde ofune obuyambi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});