Enguudo eziri mu Bajeti ezigenda okukolebwa mu Buganda

May 24, 2024

BAJETI y’eggwanga ey’omwaka ogujja eya 2024/25 erimu enguudo z’omu kitundu kya Buganda ezigenda okukolebwa okwongera okutumbula ebyentambula n’empuliziganya mu kitundu kino.

Enguudo eziri mu Bajeti ezigenda okukolebwa mu Buganda

Kizito Musoke
Journalist @Bukedde
BAJETI y’eggwanga ey’omwaka ogujja eya 2024/25 erimu enguudo z’omu kitundu kya Buganda ezigenda okukolebwa okwongera okutumbula ebyentambula n’empuliziganya mu kitundu kino.
Bajeti eyayisiddwa Palamenti wiiki ewedde era ng’esuubirwa okusomerwa eggwanga nga June 13, oluguudo lwa Kampala Flyover lwaweereddwa obuwumbi 69 n’obukadde lunaana.
Kampala ng’ekibuga ekikulu eky’eggwanga, era kyaweereddwa obuwumbi 592 zeeyambisibwe okumalawo ekizibu ky’okwanjaala kw’amazzi, akalippagano k’ebidduka, enguudo eziri mu mbeera embi, okutereeza enkulungo, okussa amataala ku nguudo n’okutereeza emyala.
Gavumenti era yaakwongera okukola n’okudaabiriza enguudo eziweza obuwanvu bwa kkiromoita 450 okuli okuli; olwa Kampala-Jinja Highway (72km) olugenda okumalawo obuwumbi 20.
Olwa Busunju-Kiboga-Hoima (145km) lugenda kuwementa obuwumbi 25. Oluguudo lwa Mityana-Mubende (86km) n’enguudo eziri mu kibuga kye Mityana (14km) zigenda kumalawo obuwumbi 42 n’obukadde 380.  
Okwongera okukola oluguudo lwa Matugga-Semutto-Kapeeka (41km) lwaweereddwa obuwumbi 61 n’obukadde 120.
Buli disitulikiti, City ne Munisipaali yaweereddwa akawumbi ka ssente kalamba nga za kukola nguudo za mallamu n’okuzinyiga obulungi. Kino kitegeeza nti munisipaali okuli; Mityana, Mubende, Mukono, Entebbe, Nansana, Makindye Ssaabagabo ne Kira buli emu egenda kuyiikamu kawumbi. City ye Masaka ne disitulikiti endala nazo zaakuganyulwa.
Gavumenti era yaakwongera okuddukanya ebidyeri 11 ebitambuza abantu okugenda ku myalo egyenjawulo okuli; Nakiwogo, Kiyindi, Bisina, Masindi, Kyoga-I, Kyoga-II, Albert Nile-l, Laropi, Obongi, Amuru ne Sigulu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});