Omukozi afunye obutakkaanya ne mukamaawe obusungu n'abussa ku mwana n'amusala obulago
May 24, 2024
Yaaya afumise omwana wa mukamaawe ekiso mu bulago ne mu kifuba oluvannyuma naye neyewa butwa obumuggye mu budde . Kigambibwa nti entabwe evudde ku yaaya okufuna obutakanya ne mukamaawe wabula bweyamugambyeko n'asalawo ekiruyi akimalire ku mwana
![](https://newvision-media.s3.amazonaws.com/cms/d355db39-84e8-4490-8ac6-63e6be9ae5c4.jpg)
Trava Otolino eyasaliddwa Yaaya
![](https://newvision-media.s3.amazonaws.com/cms/9eabc8ff-875f-4038-a774-3e1a0bf6aabd.jpg)
Yudaaya Namyalo
Journalist @Bukedde
Yaaya afumise omwana wa mukamaawe ekiso mu bulago ne mu kifuba oluvannyuma naye neyewa butwa obumuggye mu budde . Kigambibwa nti entabwe evudde ku yaaya okufuna obutakanya ne mukamaawe wabula bweyamugambyeko n'asalawo ekiruyi akimalire ku mwana .
Bino bibadde Nakigalala e Kajjansi ekisangibwa mu town ye Kajjansi mu disitulikiti ye Wakiso .Olivia Namaganda abadde akola obwa yaaya ate nga mukozi mu bbaala y'akakkanye ku Trava Otolino omwana wa Natsasha Kamsaazi n'amufumita ebiso ebyamuviiriddeko okutwalibwa mu Doctors Clinic e Seguku nga ataawa oluvanyuma ne yaaya ne yeewa obutwa obumuggye mu budde.
Okusinziira ku batuuze Namaganda bamulabyeko nga akomyewo okuva ku bbaala akawungeenzi k'olunaku lw'eggulo era nga waliwo abamuwuliddeko nga ayita Otalino okumuwa Sweet wabula olwatuuse n'amusala ekiso ku bulago n'ekifuba.
Otolino yagenze nga adduka nga bwayita senga we eyasangibwa ewaka n'amuddusa mu ddwaliro asobole okutaasa obulamu olw'omusaayi ogwabade gugenda okumuggwamu .
Wano omulambo gwa Namaganda poliisi ye Kanjansi y'agututte mu gwanika e Mulago nga n'okunonyereza bwekugenda mu maaso wakati ku batuuze okuvumirira ekikolwa ekyakoleddwa.
No Comment