Eyatemuddwa e Kibiri akwasizza mikwano gye

May 24, 2024

Poliisi ye  Kibiri nga ekulembeddemu  Oc we Kibiri Mutoni Erina  ekutte  Sharon  Nambuusi e agiyambeko  mukunonyereza ku ttemu elyakoledwa mu Hamidu Katalaga    mu kiro ekikeseeza olunaku olw'aleero  e Kibiri A ekisangibwa mu Makindye Ssabagabo

Abamu ku mikwano gya Hamid abakwatiddwa

Yudaaya Namyalo
Journalist @Bukedde

Poliisi ye  Kibiri nga ekulembeddemu  Oc we Kibiri Mutoni Erina  ekutte  Sharon  Nambuusi e agiyambeko  mukunonyereza ku ttemu elyakoledwa ku Hamidu Katalaga    mu kiro ekikeseeza olunaku olw'aleero  e Kibiri A ekisangibwa mu Makindye Ssabagabo  .

 Poliisi okutwata Nambuusi  amaze okubagamba nti babeeko naye olunaku lw'eggulo  wabula ye ne banne bwebagenze ne badda ate Katalaga n'atakomawo ate amawulire ne gajja nti Katalga yatemeddwa.

 Omusasi waffe waatuukidde mu kifo ewabadde ettemu nga poliisi ye Katwe emaze okuggyawo omulambo ng'egutadde ku kabangali ng'ettute  mu nyuumba ewasangibwa Nambuusi.

Wano poliisi okuva e Katwe eze ne kebera  enyumba webabade babeera n'oluvanyuma lw'okitegeera nti waliwo  ekibinja kyabavubuuka  ekibadde kiwangalirawo ate nga bakozesa n'ebilagalalagala    nga batebereza nti bebamu kubamenyi bamateeka abasula batigomya ekitundu kyabwe .

Nambuusi ategeezeza nti  Katalaga abadde babeera nabo wabula tamanyi kyabaddewo ate nga waliwo omwana abalumiriza nti  yalabye  Taata we  ne banne nga basiba Katagala emiguwa nga bamutwala ku poliisi  era n'abalaga ne kifo ewadde ensitaano .

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});