Ebyavudde mu kulonda kwa NRM e Mukono mu kunoonya abanaakwatira ekibiina bendera ku bifo eby’enjawulo ebya palamenti byalangiriddwa mu kiro ekikeesezza olwa leero.
Mu bamu ku baafunye obuwanguzi ye abaasuze mu ssanyu n’abawagizi baabwe mwe muli eyali Minisita omubeezi ow’amazzi, Ronald Kibuule nga yawangudde kkaadi ya NRM ku kifo kya Mukono North.
Kibuule yawangudde n’obululu 12,728 n’addirirwa Martha Kakai ku bululu 243 ne Harriet Mutibwa n’afuna 237.
Eyali omubaka wa Nakifuma, Ying. Robert Kafeero Ssekitoleko naye yawangudde kkaadi ku bululu 10,626 n’addirirwa Joseph Mugambe Kif’omusana ku bululu 1,104 ate Jackson John Ntwatwa n’afuna 642.
Kisuule Ronald nga bamukwasa ebyavudde mu kalulu
Ku ky’an’akwata kkaadi ya disitulikiti ku kifo ky’omubaka omukyala, Margaret Nakavubu Bakubi yafunye 22,364 n’addirirwa Peace Kusasira Mubiru Kanyesigye ku bukulu 16,668, Esther Nagawa 497 ne Doreen Nakanwagi 160.
Stephen Nakabaale, eyakuliddemu okulonda kwa NRM mu disitulikiti y’e Mukono yalangiridde nti mu Mukono South, Tadeo Kintu yayiseemu nga tavuganyiziddwa.
Ate ku kifo ky’anaakwata kkaadi mu Mukono Municipaali, Nakabaale teyalangiridde muwanguzi oluvannyuma lw’okutegeeza nti ebyavudde mu kulonda naddala eby’e Goma byabadde bigotaanyiziddwa eyakuliddemu okulonda e Goma Joseph Sulume ng’era ono yaggaliddwa ku poliisi y’e Mukono.
Andrew Ssenyonga nga ye yali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono yabadde avuganya ne Dr. Daisy Sarah Ssonko Nabatanzi.
Oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Sulume, Ssenyonga yakunze abawagizibe ne bagenda ku poliisi ekiro okuzuula ogwabadde gumukwasizza, ng’eno abasirikale gye baamugwiriddeko ne bamukuba n’alumizibwa nnyo ssaako mugandawe, kkansala ku disitulikiti y’e Mukono akiikirira abavubuka, Lauben Ssenyonjo.
Ssenyonga ne Ssenyonjo baazirise ne batwalibwa ku ddwaliro lya Mukono Church of Uganda ng’eno abasawo baabagobye ne babongerayo mu ddwaliro e Nsambya