CANSALA w'essazza ekkulu ery’e Kampala, Fr. Dr. Pius Male Ssentumbwe asiimye Babbulaaza b’e Kisubi
(Brothers of Christian Instruction) abaddukanya essomero lya Uganda Martyrs High School Lubaga olw’okugunjula obulungi abaana b’eggwanga nga babasomesa eby’amagezi ag’omu mutwe n’empisa ez’obugunjufu.
Yategeezezza nti olw’ensomesa ennungi eya Babbulaaza b’e Kisubi, Uganda Martyrs High School Lubaga batendese abantu bagasa mu ggwanga lino n’ensi yonna okutwaliza awamu.
“Twebaza Babbulaaza b’e Kisubi olw’omulimu omulungi. Ssaabasumba Paulo Ssemogerere musanyufu nnyo era asuubizza nti ajja kwongera okukolagana nammwe obulungi,” Fr. Male bwe yategeezezza. Yabadde ayigiriza mu Mmisa ey’okwebaza essomero lino bwe lyabadde lijaguza emyaka 59 bukya litandikibwawo. Omukolo
gwabadde ku ssomero e Lubaga mu gye buvuddeko.
Fr. Male yeebazizza abazadde olw’okufuba okuweerera abaana baabwe. Abayizi yabakuutidde obutalabankana, essira baliteeke ku misomo gyabwe basobole
okubeera obulungi mu maaso.
Ssenkulu wa Babbulaaza, Bro. Casio Aizire yasanyukidde enkulaakulana etuukiddwaako essomero lya Uganda Martyrs High School Lubaga, lye yagambye nti lye limu ku masomero gaabwe ge basinga okwenyumiririzaamu.
Fr. Male yawadde abayizi 42 essakramentu lya kofirimansiyo n’atongoza n’abakulembeze b’abayizi abaakalondebwa. Omukolo gwetabiddwaako ne Fr. Dr. John Bosco Ssettumba akola mu ofiisi y’ebyenjigiriza ey’Essaza ekkulu ery’e Kampala, omulyoyi w’emyoyo gy’abayizi mu ssomero lino, Fr. Joseph Balikuddembe, n’omumyuka wa Bwanamukulu
wa Lutikko y’e Lubaga, Fr. John Mary Walugembe.