Ssaabasumba atongozza okusabira ebikujjuko bya Lutikko y’e Lubaga eby’emyaka 100

Ssaabasumba atongozza okusabira ebikujjuko bya Lutikko y’e Lubaga eby’emyaka 100

Ssaabasumba Ssemogerere (wakati) ng’atongoza enteekateeka z’okusoma ssappule mu kwetegekera ebikujjuko bya Lutikko. Ku ddyo ye Rev. Fr. Richard Nyombi, ku kkono ye Fr. Joseph Mukiibi, Fr. Ambrose Bwan
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere atongozza ennaku 100,  ez’okusoma ssappule mu kusabira enteekateeka z’ebikujjuko eby’emyaka 100 egya Lutikko y’e Lubaga.
Omukolo gwabadde mu luggya lwa Lutikko e Lubaga ku Lwokutaano
nga gwetabiddwaako a asaseredooti, bannaddiini, bannaggye n’abayizi
b’amasomero.
Ssaabasumba yagambye nti lutikko eno si kitebe butebe oba ekizimbe wabula kabonero mu makkati gaffe ak’okukkiriza okunywevu ennyo.
“Gano maka ga Katonda mwe tukung’aanira ng’abaana ab’enda emu okusinza n’okutendereza Katonda waffe, kifo kitukuvu mwe tujja okusaka amaanyi ag’Omwoyo tusobole okugenda mu nsi nga tujjudde essuubi n’obuvumu okujulira okukkiriza
okwo mu bigambo byaffe ne mu bikolwa,’’ Ssaabasumba bwe yategeezezzaYasabye Abakristu mu ssaza lyonna okutambulira awamu mu kwegayirira n’okwefumiitiriza ku
kukkiriza kwabwe mu kampeyini eyatuumiddwa, “Ennaku 100 ssappule 100’’ nga beegayirira maama Maria omuwolereza wa Lutikko eno.Ebikujjjuko bino byakutambulira ku mulamwa ogugamba nti, “Ekiggwa kya Katonda Kitukuvu, Ekiggwa ekyo ye mmwe,’’ (1 Abakorinti 3:16-17).
Ssaabasumba yalangiridde ebigenda okukolebwa mu nnaku zino 100 ezisigaddeyo okutuukaku lwa October 26 olw’entikko y’ebikujjuko omuli:
1. Okulamaga e Lubaga buli Lwakusatu okutandika n’Olwokusatu lwa wiiki eno nga July 23, wakati w’essaawa ssatu ez’oku makya n’omusanvu ez’emisana mu kanyomero akatumiddwa “Lamaga - Yooyoota Lubaga Cathedral @100’’.
2. Omusomo ku byafaayo bya Lutikko eno n’ekigo ky’e Lubaga nga September 9, 2025.
3. Omwoleso gw’ebikwata ku Lutikko y’e Lubaga wakati wa October 17 ne 19