Omusajja agambibwa okweyita omujaasi w'eggye erikuuma pulezidenti erya SFC ku ddaala lya meeja, akwatiddwa poliisi ne bamuggalira e Bugweri.
Omusajja ono agambibwa okusangibwa ne kkaada eri mu mannya ga Maj. Enock Kategeya K. gwe bagenda mu maaso n'okukunya olw’okweyita ky'atali.
Kigambibwa nti omusajja ono ow'emyaka 34 nga waku kyalo Buwana mu Kannyogoga e Nakasongola, kigambibwa nti yeefudde aliko omusango gw'abadde agoberera ogw'okubba emmotoka ne bamukwatira mu ofiisi y'akulira bambega ku poliisi e Bugweri.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, ategeezezza nti baamusanze n'ekiso okuli SFC wamu n'ebyambalo ebyefaananyiriza eby’ekijaasi era nga waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.