Amawulire

Omuyizi wa S4 atugiddwa ng'agenda ku bbiici omulambo ne gusuulibwa ku kidda e Bukakata

ABANTU abatannamanyika, bawambye omuyizi wa S.4 ne bamusobyako , ne bamutuga, omulambo ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo oluva mu Nyendo okudda e Bukakata e Masaka.

Omuyizi wa S4 atugiddwa ng'agenda ku bbiici omulambo ne gusuulibwa ku kidda e Bukakata
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU abatannamanyika, bawambye omuyizi wa S.4 ne bamusobyako , ne bamutuga, omulambo ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo oluva mu Nyendo okudda e Bukakata e Masaka.

 

Rayati Nassali Nakato ng'abadde muyizi mu Masaka SS era ng'abadde abeera Kitwe mu ggombolola y'e Buwunga e Masaka, yattiddwa , omulambo ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo.

 

Kigambibwa nti omuwala ono, yavudde awaka ku ssaawa 4:00 ng'agenda kukima empapula z'ebibuuzo bya mooko okuva eri mukwano gwe ku kyalo ekiddako, nti nga n'ekyazzeeko kukubira muganda we Sharifah Babirye ku ssaawa nga 10:30 ez’olweggulo ng'amutegeeza nga bwe yabadde agenda ku Sand Beach e Nabugabo.

 

Kigambibwa nti teyakomyewo ate n'essimu ye n’evaako nga n'ekyaddiridde kusanga mulambo gwe ku mabbali g'oluguudo oluva mu Nyendo okudda e Bukakata era omusango ne guggulwawo ku poliisi e Kako.

 

Ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti kitaawe , Ssaalongo Isa Sekitooleko aggyiddwako sitatimenti n'annyonnyola ebyabaddewo, era omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Masaka, ng'okunoonyereza  bwe kukolebwa.

 

Kirowoozebwa, omugenzi baamutugisizza muguwa okuva mu kifo ekimu, omulambo ne bagutwala ne bagusuula mu kifo we gusangiddwa

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Bukakata
Masaka.
S4
Mulambo
Muyizi
Kitalo