OMUTUKUVU Paapa Francis embeera y’obulamu bwe yeeraliikirizza Abakatoliki okwetooloola ensi, bwe bamuwadde ekitanda oluvannyuma lw’okufuna okukaluubirizibwa mu kussa.
Paapa Francis baamuddusa mu Gemelli Hospital e Roma k wokutaano oluwedde, ng’afunye ssennyiga ate ng’akaalubirizibwa mu kussa, kyokka ne kirowoozebwa nti teyali waakulwayo nnyo.
Wabula agava e Roma gagamba nti Paapa obulwadde bwamweyongedde, era emikolo gy’abadde alina okukola mu Vatican wiiki eno gyonna ne gisazibwamu, okutuusa
ng’ateredde.
Okusinziira ku mwogezi w’e Vatican, Matteo Bruni, Paapa rancis, 88, abasawo abakugu
abamuliko baamwekebezze ne bazuula ng’amawuggwe ge gaafuna yinfekisoni embi eyakosa ne payipu etambuza omukka nga waakwetaaga ekiseera ekiwera mu ddwaaliro.
Okusinziira ku mukutu gwa AFP, Paapa okulwala yaddirira okumala wiiki 2
ez’omuddiringanwa ng’akola nnyo omubiri gwe ne gwayongera kunafuwa. Ensonda zigamba nti yateereddwa ne ku byuma ebimuyamba okussa. Mu nnaku
ezaasooka nga tebanamuddusa mu ddwaaliro, Paapa yagamba abakkiriza mu kusaba nti oluusi akaluubirizibwa mu kussa, n’asaba abayambi be okumusomera obubaka bwe. Kyokka wadde yali mu mbeera nzibu, yagenda mu maaso n’okwetaba mu nkiiko ez’enjawulo. Paapa yafuna obulwadde ku mawuggwe ng’akyali muto, era ekitundu kyago ne kisalibwako, ekimuviirako okutawaanyizibwa obuwuka obuzibuwaza okussa.
Okuva lweyafuna obwapaapa mu March wa 2013, Francis azze atawanyizibwa endwadde
ez’enjawulo, era okuva 2022 yatandika okutambulira mu kagaali ate bwaba asituka akozesa muggo okumuwanirira.