Embaga y’abakadde ecamudde abantu e Iganga

EMBAGA y’abakadde ecamude abatuuze e Iganga.

Embaga y’abakadde ecamudde abantu e Iganga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Iganga

Bya Ivan Wakibi

EMBAGA y’abakadde ecamude abatuuze e Iganga.

Omuzeeyi ow’emyaka 96 bw’akubye mukyala we ow’emyaka 85 embaga ekisanyusizza abatuuze .

Embaga eno eyebyewuunyo eyabadewo eggulo ku kyalo Naluko mu ggombolora Nabitende yasombodde abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo okubeelolera

Bano baawooweddwa, Sheik Amir Mwangu Bamuwawa wakati mu nduluu n’emizira okuva mu benganda, emikwano n’abatuuze abeetabye ku mukolo guno.

Abagole baakoze obujogoli ng’abakyali abato omwabadde okukumba nga bwe bazina,okwemoola ssaako n’okweliisa ceeke n’okwenyeesa juyisi eyabadde entikko y’omukolo.

Sheik Mwangu yasiimye abafumbo bano okutukuza Obufumbo bwabwe nti kubanga bwe bumanyidwa Katonda ng’Obutukuvu nga kati bafunye emikisa mu bufumbo bwabwe. Ono yasoomozezza abafumbo abatatukuzanga bufumbo bwabwe okukikola nti kubanga babeera nga bamalaaya.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Iganga, Ezera Gabula yategeezezza ng’embaga eno bwe yabadde ebyafaayo mu kitundu era n’asaba abantu okukoppa abakadde bano.

Ye omubaka omukyala e Iganga, Sauda Kauma eyabadde omugenyi omukulu yasinzidde wano n’akubiriza abafumbo okwewala enjawukana basobole okuwangaaza obufumbo bwabwe ng’ abakadde bano ababadde awamu okusoba emyaka 50 .

Ye omugole muzeeyi Kisaame yagambye ng' ekyamulwiisa okukuba embaga kwe kubulwa obusobozi ng’ akyali muto nti kyoka kati awulira essanyu okutuuka ku buwanguzi buno.

Ono yategeezezza nga bw’awulira essanyu okuwangaala ne mukaziwe ono gwe yafuna yekka mu maka 1960 nga era okuva lwe yamufuna tanobangako

Ekibayambye okuwangaala nga bali bombi ye buli muntu okuwa munne eddembe mu byakola n’okwesonyiwagana ssinga wabeerawo ekibanyiiza.

Ate omukyala Nabirye yeebazizza Katonda okumuwangaaza n’asobola okutuuka ku mbaga ye gy’agambye nti yabadde nsava ng’ esinga endala zazze alaba n’okubeerako.

Asiimye omwami we n’abaana okusobola okukora embaga eno ey’ekitiibwa.

Abaana b’abakadde bano abakulembeddwaamu Hamuza Banewalikilire ‘Selbean’ era omuyimbi omuto bagambye nga bwe benyumiriza mu bazadde baabwe bye babakoledde kye bavudde babakwatiddeko okutuukiriza ekirooto kyabwe.