Amawulire

Ekya Gav't okuyimiriza abavuba mukene olw’envuba embi kitiisizza ab’e Buvuma

Abavubi n'abasuubuzi ba mukene mu bizinga by'e Buvuma bali mu kutya ng'entabwe eva ku kya bannaabwe abavuba empuuta okukibateekako nga bwe beenyigira mu nvuba emenya amateeka bbo kye bawakanya.

Abavubi nga bali lwaniko lwa mukene.
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

Abavubi n'abasuubuzi ba mukene mu bizinga by'e Buvuma bali mu kutya ng'entabwe eva ku kya bannaabwe abavuba empuuta okukibateekako nga bwe beenyigira mu nvuba emenya amateeka bbo kye bawakanya.

Kino kivuddeko gavumenti okukola eteekateeka ewera okuvuba mukene mu mazzi ag'e buziba nga bakozesa ebitimba ebiwanvu ne yingini mu nvuba emanyiddwaa nga haliyaapu.

Bano bagamba nti abavubi b'empuuta nga bayita mu kibiina ekigatta abavubi ki Association of Fishers and Lake Users of Uganda (AFALU) baawa Minisita w'obuvubi Hellene Adoa amawulire ag'obulimba nga mu kuvuba mukene bwe bavubiramu ebyennyanja ebito nga kino bakiwakanya. 

Nga basinziira ku mwalo gw'e Namakeba ku kyalo ky'e Kasaali B mu ggombolola y'e Nairambi mu disitulikiti y'e Buvuma, bano balaze obutali bumativu nga bagamba nti okubateekako eky'envuba emenya amateeka si kituufu kuba okuva amagye agalwanyisa envuba embi lwe gajja ku nnyanja, amaato agaali gakozesebwa abavuba obubi n’ebitimba bazze babyokya ng’era bbo bakozesa maato agali mu mateeka n’ebitimba ebikkirizibwa mu mateeka mu mulimu gw’okuvuba mukene.

 Abavubi nga bali n'akatimba ke bakozesa okuvuba mukene.

Abavubi nga bali n'akatimba ke bakozesa okuvuba mukene.

Ruth Mirembe ng’akulembera bakyala mu ggombolola y’e Nairambi ng’era muvubi wa mukene ategeezezza nti omulimu gwa mukene gukwatiridde emitwalo n’emitwalo gy’abantu abawangaalira mu bizinga nga buli lyato erivuba mukene liwa abantu nga 15 emirimu buli lunaku lwe litwalibwa mu nnyanja okuvuba.

Mirembe agamba nti basasula n’omusolo gwa gavumenti ku mitendera egy’enjawulo okutandika ne layisinsi emitwalo 175,000 ssaako ensimbi ze basasula okukkirizibwa okukozesa ennyanja (lake users fee) emitwalo etaano sso nga buli nsawo ya mukene esasula enkumi ssatu ez'empooza nga zino za ggombolola. 

Imran Ssamba nga muvubi agamba nti kikyamu abavuba empuuta okukiteeka ku bavuba mukene nti be beenyigira mu nvuba emenya amateeka era mbu be bavuddeko ebbula ly’eby’ennyanja ky’agamba nti si kituufu.

Ssamba agamba nti omujjuzo ku nnyanja wadde ng’ate yo teyeeyongerako nakyo kizibu ekivuddeko ebyennyanja okukendeera mu nnyanja.

Abamu ku bavuba mukene ku mwalo gw’e Namakeba nga bibasobodde.

Abamu ku bavuba mukene ku mwalo gw’e Namakeba nga bibasobodde.

“Kye kiseera gavumenti erowooze ku ky’okuwummuza ennyanja ne bwe gwandibadde mwezi gumu buli mwaka. Ebbanga eryo ebyennyanja bifuna omukisa okuzaala n’okukula nga tebirina kutataaganyizibwa nga bwe guli kati,” bwe yannyonnyodde.

Abdul Onzima, ssentebe w’ekyalo Namakeba agamba nti amaze emyaka egisoba mu 20 ng’ali mu mulimu gw’okuvuba mukene wabula mbu obutafaanana na bannaabwe abavuba empuuta, bbo bawummula mu kuvuba empuuta kumpi buli mwezi lwe wabaayo omwezi, nga n’ono yawagidde eky’okuwummuza ennyanja.

Hamza Ocheng nga muvubi awadde gavumenti amagezi eveeyo eteeke ekkomo ku nnamba y’amaato omuntu g’alina okubeera nago kuba mu kiseera kino eriyo n’omugagga omu ng’alina amaato agasoba mu 100 nga bano be bateeka akazito ak’amaanyi mu nnyanja n’eby’ennyanja ne bituuka okubula ne beekwasa kimu nti nvuba emenya amateeka y’evunaanyizibwa nga babuusizza amaaso ensonga endala.

Kate Clement, sipiika w'eggombolola lino asabye gavumenti okukwata ensonga eno n'obwegendereza kuba abavubi b'empuuta n'aba mukene bonna ba mugaso ng’okusindiikirizaako abamu abalala babaleke kijja kuleeta embeera etali ya butebenkevu mu bizinga oba oly’awo n’ebitundu ebirinanyeewo.

“Tulina ebibiina ebisoba ne mu 100 ebizze bifuna ssente za gavumenti nnyingi nga bikola gwa kuvuba mukene, bw’oggyawo omulimu ogwo, olwo abo baba bagenda kukola batya okusasula ensimbi ezo, oba olwo ziba zigenda kufiirayo?” bwe yeebuuzizza.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Buvuma, Adrian Wasswa Ddungu asalidde gavumenti omusango olw’okusalirangawo ensonga mu woofiisi nga bbo abakwatibwako tebamaze kwebuuzibwako.

Ddungu agamba nti gavumenti yabaggyako obuvunaanyizibwa ku nsonga z’ennyanja n’etwala n’emisolo gyonna egiva mu nnyanja olwo bbo ne basigala tebalina we baggya nsimbi ng’ate n’obutono bwe babadde basolooza mu mpooza babuyingiddemu.

Wabula ono era awagidde eky'okuwummuza ennyanja ng'agamba nti abantu abayimiriddewo ku yo basusse obungi. 

Tags: