Ekkanisa ya Uganda egobye ebya Gavumenti okusasuza ebisale by’amasomero mu URA mu masomero agaatandikibwa Ekkanisa.
EKKANISA ya Uganda egobye ekiteeso Gavumenti mw’eyagalira okusolooza ebisale by’amasomero ng’eyita mu kitongole ekisolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA), n’etegeeza nti kino kyakulemaza enkulaakulana y’amasomero Ekkanisa ge yeetandikira nga Gavumenti egiyambako buyambi.
Bp. Kaziimba (wakati) N'abalala Abaabadde Mu Kusaba Kw'okwebaza Ku Mengo Senior School.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu bwe yabadde ku ssomero lya Mengo Senior School mu kusaba okw’okwebaza ekitongole ky’Ekkanisa eky’ebyenjigiriza, yagambye nti eky’okuba nga Gavumenti eyambako amasomero g’Ekkanisa tekitegeeza nti gaafuuka gaayo nti era kino tebagenda kukikkiriza kubanga enkung’aanya ya fees ebaddewo terina buzibu.
Dr. Kaziimba yabadde ayanukula lipooti eyafulumira mu lupapula lwa New Vision nga March 25, 2025, eraga nti gavumenti ng’eyita mu URA eteekateeka okusolooza ebisale okuva mu masomero omuli n’ago agaatandikibwawo Ekkanisa ng’egayambako.
Yagambye nti oluvannyuma lwa lipooti eno, olukiiko lw’ebyenjigiriza mu Bussaabalabirizi bw’Ekkanisa lwatudde ne lukigoba kubanga amasomero ga Church of Uganda si ga Gavumenti.
"Okusinziira ku katundu 13(iii) ak'etteeka ly'ebyenjigiriza erya 2008, amasomero gaffe gaateekebwa mu kibinja ky'amasomero agayambibwako Gavumenti. N’olw’ebizibu ebingi ebiyinza okuva mu nteekateeka ya URA, amasomero ga Church of Uganda tegajja kuba kitundu ku nkola eno." Ssaabalabirizi Kaziimba bwe yategeezezza.
Yasabye olukiiko lw’Ekkanisa olutwala ebyenjigiriza okukwatagana n'Enzikiriza endala mu lukiiko lwa Uganda Joint Christian Council (UJCC) okwegattira awamu okuwabula Gavumenti ku nsonga eno eyinza okucankalanya embeera y’ebyenjigiriza.