KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be bulijjo okunyikirira okukola bave mu kukaabirira n’okusabiriza Bannabyabufuzi abalindiridde okubatega obunyeebwa.
Bino biri mu bubaka bwe eri Obuganda ng’abuyisizza mu katambi akazanyiddwa eri abantu abeetabye ku mukolo gw’okujjaguza nga bwegiweze emyaka 32 bukya atikkirwa okubeera Kabaka wa Buganda owa 36.
Kabaka era asinzidde mu bubaka buno n’alabula abantu ku kiseera ky’ebyobufuzi kyebayingidde ng’abalabe ba Buganda bwebakikozesa ate okubeerako byebayitamu bwatyo n’abasaba babekengere!
“Mwewale abo bonna abagufudde omuze okwerimbika mu mateeka agatali matuufu okugezaako okunafuya obwakabaka, kino tukirabye emirundi mingi,” Kabaka bwayongedde okulabula abantu be.
OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU:
Mbalamusizza mwenna,
Twebaza Katonda waffe atuwadde obulamu, obusobozi, n’okutukuuma okutuuka leero nga tujjukira amatikkira aga 32.
Tusiima n'okwenyumiriza ennyo mu bantu ba Buganda abali mu byalo, mu bibuga, amasaza era n'abo abali ebweru wa Buganda ne Uganda, wakati mu bisomooza ebingi ebiriwo ensangi zino, mulwanye masajja okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo.
Tubeebaza bulijjo olw'okubeera abavumu n'okulemera ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka bwaffe ekiseera kyonna, tusaba nti temuddirira, era mwewale abo bonna abagufudde omuze okwerimbika mu mateeka agatali matuufu okugezaako okunafuya obwakabaka, kino tukirabye emirundi mingi.
Abakulembeze mu Buganda ku mitendera gyonna tubeebaza, mubadde banywevu ddala mu mbeera zonna ezitwolekedde. Mikwano gyaffe mu Uganda ne mu Nsi endala muwagidde emirimu gy'Obwakabaka tubeebaza nnyo olw'okukolagana naffe.
Akaseera ketuyingidde ak'ebyobufuzi gwe gumu ku miwaatwa eminene abalabe ba Buganda mwebatera okuyitira, mbasaba mubeere bagumu era abantu ab'engeri eyo mubeekengere.
Tubasaba, nga bulijjo munyiikire okwekolera mmwe mwennyini okusinga okukaabirira n'okulindirira ababajja ku mulamwa nga babawa obunyebwa.
Mbakwasa Katonda n'ekiseera kyetulimu, amiina