Amawulire

Abakuumi bavudde mu mbeera omu n'akuba munne amasasi agamuttiddewo

Wabaddewo ekikangabwa, omukuumi bw'akyusirizza munne emmundu n'amukuba amasasi agamusse oluvannyuma lw'okufunamu obutakaanya. 

Abakuumi bavudde mu mbeera omu n'akuba munne amasasi agamuttiddewo
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Wabaddewo ekikangabwa, omukuumi bw'akyusirizza munne emmundu n'amukuba amasasi agamusse oluvannyuma lw'okufunamu obutakaanya. 

Bibadde mu kabuga k'e Bamusuuta mu disitulikiti y'e Kiboga, omukuumi Moses Karuhanga gy'agambibwa okukuba munne bwe babadde bakuuma banka ya BRAC, Moses Engoromoit amasasi ku mutwe n'afa. 

Kigambibwa nti bano bombi, bakuumi b'ekitongole kya Ultimate Security company era nga babadde ku mulimu ku saawa musanvu ogw'ekiro ekikeesezza leero. Gwebasse abadde alina batuuni ng'agambibwa okukuba amasasi ye alina emmundu. 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Rachel Kawala, ategeezezza nti Karuhanga olumaze okukola ekikolwa kino, ne yeloopa mu bakaama be, n'asuulawo emmundu n'abulawo nga ne Kati, bamuyigga.

Tags: