Ekitongole ekivunanyizibwa ku kukola Number plate z'emmotoka empya ekimanyiddwa nga Virtus Global Security kisambazze amawulire agagamba nti ekitongole kino kikola emirimu kasoobo .
Ekitongole kino kikola number plate ezisobola okulondoolebwa singa omugoba waayo akola ensobi ku luguudo ( Intelligent Transport Monitoring System project ) okusobola okumalawo ebikolobero ku nguudo.
Ekitongole kino kifulumya number plate 2,500 era nga kyetegefu okuweereza bannayuganda obulungi.
Abakozi nga bakola butaweere okufulumya number plates
Azat Akmyradov akwasaganya ebyensimbi n'enkolagana ne gavumenti mu kitongole kino-ITMS agambye nti number plate zino za mugaso nnyo kubanga ziyamba abantu okwegendereza nga bavuga emotooka balemye kukola nsobi kunguudo ekiyamba okulwanyisa obubenje obuviirako n'abantu okufa.
Mubarak Kirunda agambye nti mu kiseera kino number plate ez'omutindo 95,000 zezakakolebwa nga zino kuliiko eza Pikipiki kwosa n'okutendeka aba police yebidduka 900 okusobola okukola ku tekinologiya ono