ABAKULIRA ekitongole ekivunaanyizibwa okulungamya abawozi b'ensimbi ekya ‘Uganda Microfinance Regulatory Authority” [UMRA] baanukula omulanga gwa Pulezidenti Museveni bwe balangiridde nga bwe baleeta amateeka amakambwe okukomya abaabadde babba bakasitooma baabwe.
Rachael Vanesa Muhwezi maneja avunaanyizibwa ku kkampuni eziwola ensimbi yagambye nti teri manerenda akkirizibwa kuwoola muntu yenna ssente ate namuwandiisa endagaano nti otunze kubanga etteeka weriri lyafuluma dda mu 2018.
omuntu yenna bwanakuwaabira mu offiisi yaffe eya UMRA tugenda kukwata era ne layisensi yo tusobola okugisazaamu.
Muhwezi yaayongeddeko nti kampuni zonna eziwandiisa naffe mu UMRA nga ziwoola abantu nga ziyita ku mutimbagaano kyokka nga bagenda mu massiimu gaba kasitoma baabwe ne baggyamu amassimu g’abantu baabwe ne batandiika okubakubira nga baabagamba nti omuntu gundi tumubanja ekyo kimenya mateeka era tuggya kubakwata
Kubanga etteeka lya “Data management act” likugira omuntu yenna okumala gakozesa ebikwata ku muntu nga tebafunye lukuusa. Era abanakwatibwako tuggya kuggalawo APP zamwe.
Yasabye bannayuganda abagenda mu ba manerenda ne baabagyako amagoba amangi agasusse wadde tewali tteeka lyakoleddwa liteekawo muwendo gwa ssalira ku magoba agalina okugibwa ku muntu naye tusobola okutunnula mu nsonga zamwe.
Akulira ekitongole kino Edith Tusubira okivunaanyizibwa ku Microfinance, manerenda, SACCO n’ebirala nga Nigiina yagambye balina ba mmemba abasukka mu 1800. Era basobodde okukungamya ssente ezisoba mu buwumbi 390. okuzigatta ku ggwanika lye ggwanga gattako okunnunula obuwumbi munana ne kitundu ezibadde zibiddwa mu myaka ettaano.
Tusubira yagambye nti mu myaka ettaano gye bakamala mu ntebe bafunye okwemulugunya kw’a bantu abasoba mu 800 nga bakasobola okukolako ku bantu 400 bokka. Ekitegezza nti bakyalina omulimu munenne
Yasabye bannayuganda abalina okwemulugunya okukukuba ku ssimu ey’obwereere No. 0800111449.
Yalabudde bannayuganda nti okwewoola ssente ku mutimbagaano si kibi oba tekimenya mateeka wabula buli muntu agenda okwewoola ssooka wegendereze omuntu agenda okuwoola osooke ogendeko ne ku offiisi ye omanye nti alina layisensi yaffe eya UMRAS.
Tusubira yagambye nti balina etteeka lye baleeta eppya eriyitiibwa “Lending Regulation 2024” lino tetugenda kusogoola birimu mu kiseera kino wabula nga ssaawa yonna ligenda kufuluma era lyakubeera kambwe ku bantu ababadde babba abantu nga babawoola.
Ku kyaba manerenda ababadde bawoola abantu ne babagyako endagamuntu ekyo abakikola mukimanye nti mumenya mateeka kubanga omuntu obeera omuggyeko ekimwogereako nti munnansi era etteeka lyayita dda mu 2018 ogya kuvunaanibwa.
Kwabo abagenda mu maaso n’okuwoola abantu nga tebalina layisensi naamwe ekyo mumenyera ddala mateeka