Ekibanja kitabudde baliraanwa

Omukyala ng'alaga ekiubanja ekikaayanirwa
By Paul Galiwango
Journalists @New Vision

Famire eri mu kulajaana oluvannyuma lw'agambibwa okubeera mulirwana waabwe gwebalumiriza okwekobaana n'abantu bebatamanyiko okuleeta guleeda n'esenda emmere yaabwe gyebabadde bakasimba, okusaawa ebitooke ssaako okubabbira ebisolo byabwe.

 

Bino byonna biri ku kyalo Bamba Kitagobwa tawuni kanso ye Kasangati mu Wakiso aba famire y'omugenzi Edward Luboyera bweyalumbidwa abantu mu kiro ne guleeda wamu n’abagambibwa okubeera ba kifeesi nebabasibira munju nebasenda emmere yaabwe okusaawa ebitooke ssaako n'okumenya kabuyonjo wamu n'ekiyumba ky'embizi.

 

Aba famire nga bakulembeddwamu Benedict Kasirye mutabani w’omugenzi omukulu wamu ne namwandu Nalongo Luboyera balumiriza mulirwana waabwe Lawrence Muganga “Bamu” okwekobaana n’abantu okuli Gad Tweheyo, Ivan Kivumbi Lutaaya,George Mayega va mu wofiisi ezenjawulo n’asaawo abaagala okubasuuza ekibanja kye balumiriza okubeera nti kyaweebwa jajja bwe Mukasa Kanoyloki agambibwa okufa nga talese mwana wabula ekibanja kye n’akirekera jajjabwe Blasio Kibuuka Namutete eyali mukwano gwe eyamujanjaba kutuuka kufaera nga taata wa Muganga y’omu kubalagira kibuuka okusikira Makasa.

Emmere esaayiddwa

Emmere esaayiddwa

 

Kasirye yategeezezanti okuva kitaabwe nga tanafa tewali muntu yenna yali avuddeyo nga akayanira kibanja wadde okujja okulima ku malaalo ga Mukasa wabula olwamala okufa Muganga n’atandika olukwesikwesi okutwala ekibanja kyabwe ekiweza obugazi bwa yiika 8.6 nga yasooka kuleeta bantu kuzimba malaalo ga Mukasa gweyatuuma Mukasa Kivumbi.

 

Eyaliko ssentebe wekitundu kino okumala emyaka 15 Ssegujja Samuel Batte yategeezezza nti okuva mu myaka gya 1975 ekibanja kyalimu bannyia ba Kibuuka beyalabiriranga wabula batuuka nebajja nga bafa era nga ekibanja Kibuuka yakifuna ku mukwano gwe Mukasa atalina kibanja era nga ne Kibbuka yazaala omwaana omu Luboyera era nga Kibuuka bweyafa ekibanja yakirekera mukyalawe eyakirekera Luboyera era nga yewuunya okulaba nga Muganga agamba nti awo wabwe nga kuvaedda nedda ne nannyini ttaka bweyavaayo abebinja okutereeza obutuuze bwabwe Muganga tavangayo nebane nga okuvaayo amaze kulaba Luboyera nga amaze kufa.

 

Omu ku batuuze Claire Nawaguma yategeezeza nti kitaawe yeyali akuuma ettaka lya Mulyanti eyali nannyini ttaka era nga kitaawe yeyasalawo Mukasa aziikibwe ku kibanja era nga teyaliko babe nga ekibanja kyali kyamuweebwa Mulyanti eyali nannyini ttaka era nga taata wa Muganga Valantino Kaggwa yeyali akwata busuulu wa Mulyanti.

Omukyala ng'alaga ebiggya

Omukyala ng'alaga ebiggya

Abafamire bategeezeza nti bagezezaaako okwekubira enduulu mu ofiisi ezenjawulo wabula buli webatuuka basookera kukubabuuza kyebabawa nga enfunda eziwera baddukidde ku poliisi ye Kiteezi wabula mpawo muntu yenna akwatibwa.

Muganga ayogerwako naye wakati mubutakwatanya byayogera yategeezeza nti ekibanja tekibangako kya Mukasa wabula kyali kya Angello Kivumbi eyaleeta Mukasa okukuuma ekibanja era nga Kivumbi yeyazaala Lutaaya nga kati abaana be bayambako okufuna ekibanja kya jajja wabwe era nga bano bebali emabega wokusenda okwakoledwa.