Bya Sauyah Namwanje
Eddwaaliro ekkulu ery'e Mulago kyaddaaki olwleero lisiibudde abantu abasookedde ddala okussibwamu ensigo ensibulize.
Nga December 20,2023, okusimbuliza ensigo okusookedde ddala mu East Africa kwakolebwa e Mulago nga bayambibwako abakugu mu kusimbuliza ensigo abakulemberwa Dr. A. Sashi Kiran okuva mu ddwaaliro erya Yashoda e Buyindi.
Mulago's Acting Executive Director, dr Rosemary Byanyima.
Bino, byakolebwa oluvannyuma lw'omukulembeze w'eggwanga okuteeka omukono ku tteeka erikkiriza abasawo okusimbuliza ebitundu by'omubiri nga babizza mu muntu omulala.
Ku nkomerero y'omwaka oguwedde, Minisita omubeezi ow'eby'obulamu eby'obulamu mu ggwanga Dr. Ruth Aceng yategeeza nti buno bwe buwanguzi Uganda bw'etuseeko mu buweereza bw'ebyobulamu era n'alaga nti abantu ebitundu 2 ku 100 be bawangaala n'obulwadde obwensigo.
Mulago esimbuliza n'ebitundu ebirala okuli amaaso, ekibumba n'amawugwe.