Bino byayogeddwa minisita avunanyizibwa ku kikula ky’abantu Betty Amongi eggulo ku Media Centre n’agamba wadde nga baabadde beetegese okutandika okugaba ssente, kyokka abakola ku gw’okuwandiika abantu abalina okufuna (ba Town Clerk) baabadde tebanaweereza mannya.
We zaaweredde essaawa 8:00 ez’olweggulo nga b’akaweerezebwa amannya g’abantu 21,489 bokka. Ekibuga kye Gulu kye kyabadde kyakaweereza amannya agawera 4,091 ne munisipaali ye Kira gye baabadde baweerezza 1,316. Balubirira okuwa abantu 51,000 nga buli omu waakufuna emitwalo 10.
Mu Kampala tewali linnya lyamuntu lyabadde lyaweerezeddwa, olw’okuba ng’omulimu gw’okusunsula abookufuna gwabadde gukyagenda mu maaso.
Amongi yeetondedde abantu olw’obutabaweereza ssente, kyokka n’akakasa nti ssente zigenda kuweerezebwa ku Lwokuna enkya nga July 8, 2021 ku ssaawa 4:00 ez’okumakya.
Katikkiro, Robina Nabbanja y’agenda okutongoza okugaba ssente zino ku ofiisi ye era y’agenda okunyiga eppeesa erisindika ssente eri namukisa anaasooka.
Ba Town Clerk abatannaba kumaliriza kuweereza mannya basabiddwa okukikola mu bwangu abantu abawera basobole okufuna ssente ku Lwokuna.
Dr. Chris Baryomunsi minisita avunanyizibwa ku by’mawulire yatangaazizza ku bantu abatateekebwa ku nkalala ng’abaliko obulemu n’abakyala. N’agamba nti bajja kuweebwa ssente singa banaasangibwa nga bagwa mu biti ebyasunsulwa edda ebirina okuganyulwa.
Yagambye nti pulojekiti si yaakujja bantu mu bwavu, wabula yaakuyamba abo bokka abakoseddwa mu muggalo. Ekyokuba nga ebyalo ebimu biriko abantu batono abagenda okuganyulwa, yalaze nti abo bokka abagwa mu biti ebyayogerwako.
Baryomunsi yagambye nti bagenda kwebuuza ku Ssaabawolereza wa Gavumenti abawabula ku ngeri gye balina okukuumamu ebyama ebikwata ku bantu ebyaweereddwayo.