EBYAVUDDE mu kubala abantu byewuunyisizza abantu olw’engeri amawanga agamu gye geeyongedde ennyo ate abalala ne bakendeera mu myaka 10 egiyise.
q Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bungi bw’abantu ekya UBOS kyafulumizza lipooti mwe kyalagidde ng’Abaganda ly’eggwanga erisinza abantu abangi nga bawera 7,037,404. Mu kubala abantu okwa 2014 baali 5,555,412. Kino kitegeeza beeyongeddeko 1,481,992.
q Abanyankole be baddako n’abantu 4,200,782 ate nga mu kubala okwa 2014 baali 3,217,015. Abasoga be bazzeeko n’abantu 3,703,535. q Abateeso baalivudde Abakiga mu kyokuna bwe baabaliddwa nga bawera 3,146,079. Ate Abakiga abaali mu kyokuna baabasindiikirizza mu kyakutaano n’abantu 2,947,837.
q Abagisu ly’eggwanga eryeyolese nga lyo mu kifo ky’okwongerako ate bakendededde bukendeezi ekintuabamu kye balowooza nti kyandibaamu ensobi. Bali 2,096,149. Mu 2014 baali 2,390,975 ne baba nga bakendedd bantu emitwalo kyenkana 30 (294,826). q Abalango bali 2,703,277 ate nga mu kubala okwasembayobaali 1,647,382 Abacholi - 1,941,913, Lugbara - 1,230,384, Banyoro - 1,218,121, Alur-1,152,858, Bakonzo -
1,104,462, Batoro - 1,005,433. Ate amawanga agasinga okubeeramu abantu abatono kuliko; Aliba - 32,404, Bahehe - 5,832, Mvuba-382, Vanoma-680, Mening-2,271, Gimara-14,367.
Abanyarwanda ebitundu 77 ku 100 basangibwa mu Buganda ate Abatwa 2 ku 10 nabo basangibwa mu Buganda.
ABAKAZI B’OMU BUGANDA BAZAALA KITONO
Abakazi b’omu Buganda be basinga okuzaala abaana abatono anti buli omu bamuwadde abaana abaliwakati wa basatu n’abana. Abakazi Abateeso be basinga
okuzaala nga buli omu azaala abaana 5 ku 6. West Nile bazaala 5-6, Abacholi 4-5, Abasoga- 5, Bukedi-5, Ankole-4 ne Bukedi-4. Ekitundu ky’e Kigezi kye kisingamu abantu abakadde nga bakola ebitundu 7 ku 100 ne baddirirwa Ankole n’ebitundu 6 ku 100 ate Karamoja bali 4 ku 100. Ekitundu kya Teso kye kisingamu abantu abajjumbira ebyokulima era bali ebitundu 87 ku 100 ne baddirirwa Langon’ebitundu 83 ku 100, Karamoja ne Acholi bali ebitundu 81 ku 100. Buganda y’esinga omuwendo gw’abantu abatono abayimirirawo ku bulimi nga bali 38 ku 100.
Bukedi ne West Nile be basinga abantu abangi abatalina mirimu nga bakola ebitundu
18 ku 100 buli kitundu.
Ebitundu ebisinga okubeera n’abantu abatono abatalina mirimu kuliko; Kigezi (ebitundu 8.3 ku 100) ne Ankole gye bali ebitundu 8.2 ku 100.
ABACHOLI N’ABAGISU BAKENGEDDE
Ekimu ku byewuunyisa ebyabadde mu lipooti kwe kubeera ng’omuwendo gw’Abagisu gukendedde.
Mu 2014 baali 2,390,975 ate ebyafulumye byabalaze nga bali 2,096,149 oluvannyuma
lw’emyaka 10.
Abacholi baabadde 1,941,913 ate nga we baabalira mu 2014 baali 2,131,443. Kino kyewuunyisizza abantu nga beebuuza engeri gye kyazzeemu naddala mu bitundu ebitabaddeemu ntalo nti kyaviirako abantu okukendeera. Katikkiro wa Uganda, Robinah
Nabbanja yagambye nti ebyafulumiziddwa kwe bagenda okusinziira nga bategekera ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso. Yeebazizza aba UBOS olw’okuddamu ebibuuzo abantu bye babadde beebuuza. Ebirala bijja mu butabo bwaffe obujja.