AMYUKA disitulikiti Khadhi w'Abasiramu mu Iganga asindikiddwa ku mmeere e Luzira ku bigambibwa nti yalebula abakyala ng’abayita bamalaaya.
Uthuman Shaban Ngobi 39, amyuka disitulikiti Khadhi w’e Iganga omutuuze w’e Luuka mu munisipaali y’e Iganga mu disitulikiti y’e Iganga y’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ya Buganda road Ronald Kayizzi amusomedde emisango 4 gyonna n'agyegaana.
Ngobi Mu Kaguli Ka Kkooti.
Kigambibwa nti mu mwezi gwa April 2025 ku luguudo lwa George Street mu Kampala wamu n’ebintu bya Iganga, Ngobi yasaasaanya omubaka obusiga obkyayi ng’akozesa ebyuma bikalimagezi ku mukyala ayitibwa Ahmed Shifah ne baganda be.
Kuno yagattako okubalebula ng’abayita bamalaaya ne maama waabwe,abasamize wamu n'okutta taata waabwe ekikolwa ekyattattana ekitiibwa kyabwe nga abakyala.
Emisango emirala kigambibwa nti Ngobi yasindika obubaka obusiga obukyayi ng’akozesa kompyuta wamu n'emikutu egyenjawulo okuli Tiktok n'ategeeza nti Shifah ne baganda be beenyigira mu kutta kitaabwe era nti nnyaabwe yeetunda ate alina akawuka kamukenenya.
Emisango gyonna yagyegaanye era omuwaabi wa gavumenti mu musango guno Ivan Kyazze yategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwe kuwedde n'asaba kkooti okubawa olunaku okutandika okuguwulira.
Sylvia Namawejje Epitu nga ono ye munnamateeka wa Ngobi asabye kkooti omuntu waabwe yeeyimirirwe era yayanjulidde kkooti abantu bana okubadde abaserikale Sulaiman Ssenkayi, Ngobi Sulaiman n'abalala era nga bonna mikwano gye.
Omuwaabi wa gavumenti yawakanyizza ekya Ngobi okusaba okweyimirirwa kuba nga tebaayanjudde kifo kituufu gy’abeera.
Awo we yasabidde kkooti ebaweeyo obudde okwekebejja ebiwandiiko ebireeteddwa mu kkooti ebya bamweyimiridde wamu n’ebya Ngobi okuzuula ekifo ekituufu gy’abeera.
Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga June 24, 2025 okuddamu okusaba kwenjuyi zoombi.