Amawulire

Eby’ennyumba ya Sipiika e London;Baleese ebiwandiiko ku bwannannyini

EBY’ENNYUMBA ya sipiika wa Palamenti, Anita Among egambibwa nti eri mu Bungereza byongedde okubuzaabuza, Abangereza bwe bongedde okulumiriza nti ennyumba yiye bwoya.

Ekizimbe ekiri ku Waterden Road mu kibuga Longon okuli Flat 4 gye bagamba nti ya Among.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EBY’ENNYUMBA ya sipiika wa Palamenti, Anita Among egambibwa nti eri mu Bungereza byongedde okubuzaabuza, Abangereza bwe bongedde okulumiriza nti ennyumba yiye bwoya.
Kyokka afulumizzaayo ekiwandiiko ng’alayira nti talina kantu konna Bungereza era alaze n’ebiwandiiko by’agamba nti biraga nnannyini nnyumba omutuufu.
Bino biddiridde Pulezidenti Museveni okuwandiikira Sipiika Among, ng’agamba nti Bungereza yamutegeezezza nga Among bwalina ennyumba esangibwa mu kibuga London ku Flat 4, Silk House, 7 Waterden Road, London, E20 3AL e United Kingdom, era n’amusaba amunnyonnyole oba ennyumba yiye, oba apangisa mpangise.
Museveni yalagidde minisitule y’ensonga z’ebweru mu ggwanga, okunoonyereza ebikwata ku nnyumba eno, era ne Kaliisoliiso wa gavumenti n’amulagira okugoberera ensonga zino.
Mu kwanukula, ng’ayita ku mukutu gwe ogwa X eyali Twitter, Among yalayidde n’akomba ne ku ttaka nti ennyumba eyogerwako si yiye, era n’ateekako n’ebiwandiiko ebiraga nti ennyumba eno eri mu mannya ga kkampuni.
Kyokka bannannyini kkampuni eyo eya Places for People Homes Limited eri mu biwandiiko Among bye yatadde ku mukutu gwe, nti be bannanyini b’ennyumba eyogerwako, bo amannya gaabwe tegannaba kutegeerekeka.

Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore, yawolerezza Among nti talina nnyumba Bungereza, n’asoomooza Abangereza baleete ekyapa ekiri mu mannya ga Sipiika. Bino byonna okubaawo kyaddirira Bungereza okuteeka nnatti ku Baminisita ba Uganda babiri ne Sipiika Among nga Bungereza ebalumiriza okubeera n’omukono mu by’okubulankanya amabaati g’abawejjere b’e Karamoja.
Embeera eno yavaamu ensisinkano wakati wa Pulezidenti Museveni  n’omubaka wa Bungereza mu Uganda, nga April 30, 2024, omubaka ono mwe yategeereza Museveni nti Bungereza yasazeewo okuteeka nnatti ku Sipiika Among, Agnes Nandutu ne Mary Goretti Kitutu olw’okubulankanya amabaati g’abawejjere ab’e Karamoja. Era n’ennyumba egambibwa nti ya Among nayo Museveni yagitegeerera mu nsisinkano eno, era kwe kulagira Kaliisoliiso wa gavumenti akole okunoonyereza azuule oba ennyumba eyogerwako Among yagirangirira mu by’obugagga bye.
Lipooti ya Kaliisoliiso eyafuluma, yakakasa nti Among teyalangirira nnyumba eno mu byobugagga bye ng’amateeka bwe galagira, era Museveni kwe kusaba gavumenti y’e Bungereza emuwe obujulizi obukakasa oba Among alina ennyumba, era kwe kumuwa ennyumba eyogerwako mu kiseera kino. Bukedde bwe yatuukiridde Kaliisoliiso wa gavumenti Beti Kamya, yagambye nti ebbaluwa ya Museveni yagifunye, era okunoonyereza kugenda mu maaso, kyokka n’agamba nti tajja kwogera bisingako awo, nga byonna bijja kubeera lipooti nga bamalirizza omulimu.
Bwe twatuukiridde omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ensonga z’ebweru Vincent Bagiire Waiswa, teyakutte ssimu zaffe, kyokka ye Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru Okello Oryem, yategeezezza New Vision nti baamaze dda okutegeka ttiimu y’abakugu abanoonyereza ku bwannanyini bw’ennyumba eno nga Pulezidenti bwe yasabye, era basuubira nti olwaleero bajja kuba bamaze omulimu bye bazudde babiweereze Pulezidenti.
AMATEEKA KYE GAGAMBA KU KULANGIRIRA EBY’OBUGAGGA
Okusinziira ku tteeka lya Leadership Code amendment Act, 2021, buli mukozi wa gavumenti ateekwa okulangirira eby’obugagga byalina nga ayingira ofiisi, na buli luvanyuma lwa myaka etaano.
Kino kigendererwamu okulondoola omukozi ono, okulaba oba akozesa bubi ofiisi ng’ayita mu kulya enguzi, okusinziira ku by’obugagga byayongerako. Etteeka lino era liwa ebibonerezo eri oyo abeera akukulidde eby’obugagga n’atabirangirira, singa gumusinga asobola okugobwa mu kifo kyalimu, okumulabula, kumussa amadaala, gavumenti okuwamba eby’obugagga bye, singa kizuulwa nga yabifuna mu ssente enzibe, kwossa okusasula engassi ya bukadde buna.
KATUNTU YEESIMBYE MU KITEESO EKIGOBA MPUUGA
Ate mu Palamenti ababaka abali mu kaweefube w’okukunganya emikono okusobola okugya obwesige mu bakaminsona ba Palamenti okuli n’omubaka Matthias Mpuuga basanze omuziziko, babaka bannaabwe bwe bavuddeyo ne bakuba ebituli mu nteekateeka eno.
Ababaka abagaanye okuteeka omukono ku kiteeso kino, kuliko Nathan Byanyima (Bukanga North), Martin Ojara Mapenduzi (Bardege- Layibi), Godfrey Macho (Busia Munisipaali), Jonathan Ebwalu (Soroti City West), Abdul Katuntu (Bugweri) ne Wilfred Nuwagaba (Ndorwa East).
Ezimu ku nsonga ze bawadde, kuliko Ssekikubo okulemererwa okubawa ekiteeso  kyaleeta bakisomemu nga tebannateekako mikono, kwossa okubawa obujulizi obw’enkukunala ku byavunaana bakaminsona. Ate ye Nuwagaba yagambye nti ababaka nga tebanateeka mikono ku kiteeso kyonna, balina okusooka okutegeezebwa mu buwandiike era nga emikono girina okuteekebwako mu maaso ga “Sergeant –At- Arms”, ekitakoleddwa Ssekikubo. Katuntu agamba nti ensonga eno eyinza okuggweera mu kakiiko k’akulira ak’empisa, nga kikyamu abakatuulako nga naye mwali okulaga oludda mu kiseera kino. Bakaminsona aboogerwako, kuliko Solomon Silwany ( Bukooli Central), Esther Afoyo Ochan (Mukazi/ Zombo) ne Prossy Mbabazi (Mukazi /Rubanda) kwossa eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga, nga beegabanya
akawumbi kamu n’obukadde lusanvu nga besiima olw’emirimu emirungi gye bakoze

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: