Bya Moses Kigongo
ABASUUBUZI ba kasooli beeraliikirivu olw'ebbeeyi ya kasooli eyongedde okugwa mu kiseera mwe bandibadde bakolera ssente.
Kino kiddiridde ebbeeyi ya kasooli okugwa okuviira ddala mu mwezi gwa November omwaka oguwedde (2023), we yabeerera mu wakati wa 1,450/- ne 1,500/- okutuuka wakati wa 700/- ne 740/- mwali mukiseera kino mu butale obwenjawulo mu ggwanga.
Embeera eno ye yeeraliikiriza abasuubuzi bano nga batya nti yandigenda mu maaso okutuuka ku 500/-, ekyali kyasemba okubeerawo mu 2028 , ebbeeyi ye lwe yagwa olw'okubulwa obutale (naddala ebweru w'eggwanga) gye bamutwala.
"Tutandise okukola loosi etagambika kubanga abamu tubadde twatandise okutereka kasooli nga tulowooza nti tugenda kufunamu amagoba agawera mu mwezi ogwokutaano sizoni ye lw'enebeera eweddeko,", bwatyo Juma Kalifani , omu ku basuubuzii ba kasooli mu Kisenyi bw'ategeezezza, oluvannyuma lw'okusangibwa ng'atikkula emu ku mmotoka za kasooli gw'atereka mu sitoowa ye.
Omu Ku Bavubuka Abatunda Obuwunga Mu Kisenyi
Awagiddwa banne okubadde; Godfrey Kasiita ne Ann Namugga, abawadde ensonga okuli; ey'ebbula ly'obutale bwa kasooli ebweru w'eggwanga, ey'abamu ku bantu baayise bamafia abaagala okubagoba mu mulimu guno bagusigalemu bokka nga basuubula kasooli ono wamu n'eyobwavu obuwaliriza abamu ku bakasitoma baabwe okulekeraawo okubagulako emmaali yaabwe olw'obutabeera na ssente mu kiseera kino.
"Obutale bwonna okuli ak'e Kenya,Sudan, Rwanda,Tanzania n'obulala, gye tubaddenga tutera okutunda kasooli waffe, mu kiseera kino tebukyamutugulako olw'ensonga ez'enjawulo omuli; ez'ebyobufuzi n'eyokuba nga nabo bamulina mu bungi olwa sizoni yaabwe okubeera ng'ekyaliko," bwatyo Kasiita bw'ategeezezza wakati mu nnaku.
ABAKULEMBEZE BOOGEDDE KUNSONGA ENO;
Omwogezi w'ekibiina omwegattira abalina ebyuma ebisa obuwunga n'abasuubula kasooli mu Kisenyi ekimanyiddwa nga "Kisenyi Millers Association-KMA", Hassan Tumwine nabo balaze obweraliikirivu olwa kye baayise obwetaavu bwa kasoli okubeera obutono ekiyinza okuviirako abalimi n'abasuubuzi okukola loosi ey'amaanyi ,singa sizoni ejja enaasanga nga kasooli omukadde ekyali mu katale.
Wabula bagumya bamemba baabwe obutasuulawo emirimu gyabwe wabula bagyekuumiremu nga bwe basaba Mukama okubakyusiza embeera mu myezi eginaddako (wakati wa May ne June ) sizoni ya kasooli wenagweerako.
Bino we bijjidde nga n'ebbeeyi y'obuwunga bwa kasooli nayo etandise okukka era mu kiseera kino, kkiro etundibwa wakati wa 1,800/- ne 2,000/-, oluvannyuma lw'ensawo (eya kkiro 50) okusuubulwa wakati wa 65,000 ne 68,000 okuva mu butale obw'enjawulo.