Bya Shamim Nabunya ne Patrick Kibirango
Kluthum Nabunya nnamwandu w’omugenzi Sheikh Muzaata, akomyewo mu ggwanga n’ayogera ku bya bba Akram Gumisiriza okulonda ekkubo ebyamutwazizza ku poliisi.
Kluthum yakomyewo mu kiro ekyakeesezza Ssande wabula bba Akram teyalabiseeko ku kisaawe okumukima era muganda wa Kluthum, Hajara ye yamukimye.
We yatuukidde nga bba Akram Gumisiriza yaakamala olunaku lumu ebweru w’ekkomera gye yatwalibwa ku Lwokusatu n’aggulwako omusango gw’okugezaako okutuusa obulabe ku muwala gwe yalonda ekkubo.
Olwabadde okukomawo mu kiro ekyakeesezza Ssande, Kluthum yagambye nti omwami we tasobola kukola bintu ng’ebyo era ababimusibako baagala kumuggyamu ssente ekitajja kusoboka.
Abali ku mikutu gya social media nga ‘bawalampa’ omwami we, yabawadde amagezi batuuleko wansi mu maka gaabwe eby’ewuwe babimulekere, era n’asabira omwami we omuyaga aguyitemu bulungi. “Nsaba Allah akikumalire mwami wange.” Kluthum bwe yagambye.
Kluthum yagasseeko nti, ebizibu Akram bye yatuuseeko yali yabimulabula dda, ng’alaba ayitirizza ekisa eri abantu, okutuusa naye lw’akyerabiddeko nti ekisa ekingi abantu ate bakikozesa bubi, omuwala gwe yabadde ayamba okutwalako ate bwe yamwefuulidde.
Kluthum yakiggumizza nti kimukakatako okubeererawo omwami we mu kaseera akazibu, era kyaliko kati nga bw’alinda ebinaava mu kunoonyereza kwa poliisi, kubanga kuyinza okuvaamu ensonga abaleekana ze babadde tebamanyi.
Kluthum nga tannatuuka kuno, yasoose kuteeka bubaka ku mukutu gwa WhatsApp ng’awaana omwami we nga bw’atera okukola era ng’amubuuza nti ‘nkuleetereyo ki omulenzi wange ow’eriiso?’ mu ngeri y’okulumya abaabade basuubira nti agenda kuva mu bba.
Bino byonna okubaawo, byatandika omuwala eyategeerekese nga Remmy Mwinzi okwekubira enduulu ku Poliisi ng’avunaana Akram okumuggyirayo ejjambiya amuteme, oluvannyuma lw’okulemererwa okukkaanya ku ng’eri gye balina okwesanyusaamu.
Mwinzi yagambye nti yali akkaanyizza ne Akram beesanyuseemu mu nsonga z’omukwano, era ne bagula n’obuuma obukebera siriimu, kyokka ku nkomerero ne bafuna obutakkaanya eby’okwegatta Mwinzi n’abisazaamu, ekyatabula Akram n’amuggyirayo ejjambiya.
Omusango guli ku fayiro nnamba SD: REF:15/10/10/2023 ku poliisi y’e Katwe. Akram poliisi yamuyimbudde ku kakalu kaayo, ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Amyuka omwogezi wa pmu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti okunoonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso, nga omuwaabi wa gavumenti bwe yabawabudde, era bwe kunaggwa fayiro egenda kutwalibwa mu kkooti.
Ye Akram yagambye nti omuwala ono yabadde akoze omupango bamubbe, kyokka ne bamusanga nga mugumu nnyo, n’alinnya eggere mu nteekateeka zaabwe